EKY'ABALEEVI 25
25
Omwaka ogw'omusanvu
(Laba ne Ma 15:1-11)
1Mukama n'agambira Musa ku Lusozi Sinaayi#Laba ne Kuv 23:10-11 2ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga muleka okulima ensi eyo buli mwaka ogw'omusanvu. 3Munaasiganga ennimiro zammwe, ne musaliranga ennimiro zammwe ez'emizabbibu, era ne mukungulanga ebibala byazo okumala emyaka mukaaga. 4Naye omwaka ogw'omusanvu, gunaabanga mwaka gwa kuleka ettaka liwummulire ddala, omwaka oguweereddwayo eri Mukama. Temuusigenga nnimiro zammwe, era temuusalirenga nnimiro zammwe ez'emizabbibu. 5Ebibala by'ebirime byammwe ebyemeza byokka temuubikungulenga, n'eby'emizabbibu egitali misalire temuubinogenga. Gunaabanga mwaka gwa kuleka ettaka liwummulire ddala. 6Newaakubadde ettaka teriirimwenga omwaka ogwo gwonna, naye linaababalizanga emmere, mmwe n'abaddu n'abazaana bammwe, n'abakozi bammwe, n'abagwira ababeera mu mmwe, 7n'ensolo zammwe enfuge n'ez'omu ttale mu nsi yammwe. Byonna bye linaabazanga, binaabanga bya kulya.
Omwaka Omutukuvu
8“Munaabalanga emyaka musanvu emirundi musanvu, gye myaka gyonna awamu amakumi ana mu mwenda. 9Awo ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, olunaku olw'okuddaabiririzaako, munaatumanga omuntu n'atalaaga ensi yammwe yonna, ng'agenda afuuwa eŋŋombe ey'omwanguka. 10Bwe mutyo munaatukuzanga omwaka ogw'amakumi ataano, ne mulangirira eddembe eri abatuuze b'omu nsi yammwe. Mu mwaka ogwo, buli omu anaddizibwanga obutaka bwe, era buli omu eyatundibwa mu buddu, anaddangayo mu bantu be. 11Omwaka ogwo munaagumalanga mujaguza. Temuusigenga, era temuukungulenga ebyo ebyemeza byokka. Era mu mwaka ogwo temuukuŋŋaanyenga bibala bya mizabbibu egitali misalire. 12Omwaka ogwo gwonna gunaabanga gwa kujaguza era mutukuvu gye muli. Munaalyanga ebyo bye gubaza gwokka mu nnimiro. 13Mu mwaka ogwo, buli ekyatundibwa kinaddiranga nnyinikyo eyasooka. 14Kale bwe mubanga muguza Bayisirayeli bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako, temuulyazaamaanyenga. 15Omuwendo gunaagerekebwanga, nga mubalira ku myaka, ettaka gye likyayinza okubaza ebibala, ng'omwaka ogw'okuliddiza alitunda tegunnatuuka. 16Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gwe gutundibwa. 17Temuulyazaamaanyaganenga, naye mutyenga Mukama Katonda wammwe.
Eby'okulyanga mu mwaka ogw'omusanvu
18“Mukuumenga amateeka gange, era mutuukirizenga ebiragiro byange, olwo munaabeeranga mirembe mu nsi. 19Era ensi eneebazanga ebibala byayo, ne mufuna bye mulya, ne mukkuta, ne mugibeeramu mirembe.
20“Naye muyinza okwebuuza nti munaalyanga ki mu mwaka ogw'omusanvu, nga temusize era nga temulina kye mukungula? 21Ndibawa omukisa mu mwaka ogw'omukaaga, ensi n'ebaza emmere eribamala mu myaka esatu. 22Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga.
Ebintu ebiddizibwa bannyinibyo
23“Ettaka teriitundibwenga okuliviiramu ddala olubeerera, kubanga lyange. Mwe muli bagwira era bayise, be nsenza. 24Mu nsi yammwe yonna gye mulimu, ettaka bwe litundibwa, munakkirizanga nnyiniryo eyasooka okulinunula.
25“Omuyisirayeli bw'anaayavuwalanga n'atunda ettaka lye, owooluganda lwe asinga okuba ow'okumpi, anaanunulanga ettaka eryo. 26Atalina ayinza kulinunula, bw'agaggawala n'afuna ebimala okulinunula, 27anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, n'alyoka alyeddiza. 28Bw'aba nga tasobola kulyeddiza, linaabeeranga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza. Linaateebwanga mu kujaguza, n'addamu okuba nnyiniryo.
29“Omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko ekigo, anaayinzanga okuginunula mu bbanga ery'omwaka omulamba okuva lwe yagitunda. 30Kyokka bw'ataaginunulenga mu bbanga eryo ery'omwaka omulamba, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula, n'eba yiye n'abasika be ennaku zonna. Tezzibwengayo mu mwaka ogw'okujaguza. 31Naye amayumba ag'omu byalo ebitaliiko kigo, ganaabalirwanga bumu ng'ennimiro: ganaayinzanga okununulibwa, era ganazzibwangayo mu mwaka ogw'okujaguza. 32Wabula Abaleevi, ennyumba zaabwe ezaazimbibwa mu bibuga byabwe ebyabaweebwa, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna. 33Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogw'okujaguza, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, gabeerera ddala gaabwe ennaku zonna mu Bayisirayeli. 34Naye ettaka erirundirwako ab'omu bibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga liba lyabwe ennaku zonna.
Okuwola abaavu
35“Muyisirayeli munno bw'anaayavuwalanga, nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera.#Laba ne Ma 15:7-8 36Tomuggyangako magoba n'akatono, naye otyanga Katonda wo, n'oleka Muyisirayeli munno n'abeera naawe. 37Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya.#Laba ne Kuv 22:25; Ma 23:19-20 38Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi y'e Kanaani, era okuba Katonda wammwe.
Okuta abaddu
39“Era Muyisirayeli munno bw'anaayavuwalanga ne yeetunda gy'oli, toomukozesenga mirimu ng'omuddu.#Laba ne Kuv 21:2-6; Ma 15:12-18 40Anaabeeranga naawe ng'omukozi asasulwa empeera, era omunoonyi w'obubudamo, n'akuweerezanga okutuusa ku mwaka ogw'okujaguza. 41Olwo anaakuvangako ye n'abaana be, n'adda mu bantu be, 42kubanga Abayisirayeli baddu bange, be naggya mu nsi y'e Misiri. Tebaatundibwenga mu buddu. 43Temuubafugenga lwa maanyi, naye mutyenga Katonda wammwe. 44Nga mwagala abaddu n'abazaana, munaabagulanga mu mawanga agabeetoolodde. 45Era munaayinzanga okugula abaana b'abagwira n'ab'eŋŋanda zaabwe ababeera mu mmwe. Abaana be bazaalira mu nsi yammwe, banaabanga nvuma zammwe. 46Era munaabalaamiranga abaana bammwe ng'obusika, ne bafuuka envuma zaabwe. Abo be munaafuganga obuddu. Naye Abayisirayeli bannammwe, temuubafugenga na kkaaze.
47“Omugwira abeera mu mmwe bw'aba ng'agaggawadde, kyokka Muyisirayeli munnammwe n'ayavuwala, ne yeetunda eri omugwira oyo, oba n'atundayo omuntu ow'omu maka ge okuba omuddu, 48bw'anaamalanga okutundibwa, anaayinzanga okununulibwa omu ku baganda be, 49kitaawe omuto, oba mutabani wa kitaawe omuto, oba omulala ku booluganda lwe ow'okumpi, anaayinzanga okumununula. Oba naye yennyini bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula. 50Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, omuwendo gw'asasula okwenunula ne gugererwa ku mpeera y'omukozi, egwanira emyaka egyo. 51-52Anazzangayo ekitundu ky'omuwendo gwe yamugula, nga bagerera ku myaka egikyasigaddeyo, 53nga babala empeera eya buli mwaka. Eyamugula taamufugenga na kkaaze. 54Bw'ataanunulibwenga bw'atyo, ye n'abaana be banaateebwanga mu mwaka ogw'okujaguza, 55kubanga Abayisirayeli baddu bange, be naggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 25: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.