LUKKA 17:1-2
LUKKA 17:1-2 LBWD03
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebisuula abantu mu kibi tebirema kubaawo, kyokka oyo abireeta wa kubonaabona. Kyandimubeeredde kirungi okusibibwa ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga lw'aleetera omu ku bato bano okukola ekibi.