LUKKA 22
22
Olukwe olw'okutta Yesu
(Laba ne Mat 26:1-5; Mak 14:1-2; Yow 11:45-53)
1Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, eyitibwa Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, yali eneetera okutuuka. 2Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne bagezaako okutta Yesu, kyokka mu magezi, kubanga baali batya abantu.
Yuda akkiriza okulyamu Yesu olukwe
(Laba ne Mat 26:14-16; Mak 14:10-11)
3Sitaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri. 4Awo Yuda oyo n'agenda n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abakulu b'abakuumi b'Ennyumba ya Katonda, nga bw'anaawaayo Yesu gye bali. 5Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa ensimbi. 6N'akkiriza, era n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu gye bali, ng'ekibiina ky'abantu tekiriiwo.
Yesu ategeka okulya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
(Laba ne Mat 26:17-25; Mak 14:12-21; Yow 13:21-30)
7Awo olunaku olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluteekwa okuttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne lutuuka. 8Yesu n'atuma Peetero ne Yowanne, n'agamba nti: “Mugende mututegekere Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, tugirye.”
9Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tutegeke wa?” 10N'abagamba nti: “Laba, bwe munaaba nga muyingira mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira, 11era mugambe nnannyini nnyumba nti: ‘Omuyigiriza akubuuza nti ekisenge kiruwa, ye n'abayigirizwa be mwe banaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’ 12Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mutegeke omwo.”
13Awo ne bagenda, ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Ekyekiro kya Mukama waffe
(Laba ne Mat 26:26-30; Mak 14:22-26; 1 Kor 11:23-25)
14Awo essaawa bwe yatuuka, Yesu n'atuula okulya awamu n'abatume be. 15N'abagamba nti: “Njagadde nnyo okulya awamu nammwe Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako, nga sinnaba kubonaabona. 16Mbagamba nti siryongera kugirya, okutuusa lw'erituukirizibwa mu Bwakabaka bwa Katonda.”
17Awo n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, era n'agamba nti: “Mukwate kino mugabane mwenna, 18kubanga, mbagamba nti okuva kati sijja kwongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
19Awo n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'abawa ng'agamba nti: Kino mubiri gwange [oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga kino okunzijukira.” 20Ekyekiro bwe kyaggwa, n'abawa n'ekikopo mu ngeri ye emu, ng'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda n'ekakasibwa n'omusaayi gwange oguyiibwa ku lwammwe.]#22:20 Ebiwaandiko ebimu eby'edda tebirina bigambo bya Yesu ebiddirira “Kino mubiri gwange” mu lunyiriri 19, n'ebyo byonna ebiri mu lunyiriri 20.
21“Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali nange ku lujjuliro. 22Ddala Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyategekebwa, kyokka omuntu oyo ajja okumulyamu olukwe, nga wa kubonaabona!” 23Awo bo ne beebuuzaganya ani ku bo agenda okukola ekyo.
Empaka ku kuba oweekitiibwa
24Olwo ne wabaawo empaka mu bayigirizwa nti ani ku bo alowoozebwa nti ye asinga okuba oweekitiibwa.#Laba ne Mat 18:1; Mak 9:34; Luk 9:46 25Yesu n'abagamba nti: “Bakabaka b'amawanga bafugisa bukambwe, era abo ababa n'obuyinza ku bantu, beeyita bayambi baabwe.#Laba ne Mat 20:25-27; Mak 10:42-44 26Naye mmwe si bwe mutyo, wabula asinga okuba oweekitiibwa mu mmwe, abe ng'asembayo era omukulembeze abe ng'omuweereza.#Laba ne Mat 23:11; Mak 9:35 27Kale asinga okuba oweekitiibwa ye aluwa? Oyo atudde okulya, oba oyo aweereza? Si oyo atudde okulya? Naye nze mu mmwe ndi ng'omuweereza.#Laba ne Yow 13:12-15
28“Mmwe bantu abasigadde nange mu bizibu byange. 29Nange mbateekerateekera Obwakabaka nga Kitange bwe yateekerateekera nze, 30mulyoke muliire era munywere ku mmeeza yange mu Bwakabaka bwange. Era mulituula ku ntebe ezeekitiibwa ne musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.”#Laba ne Mat 19:28
Yesu alanga nti Peetero anaamwegaana
(Laba ne Mat 26:31-35; Mak 14:27-31; Yow 13:36-38)
31Awo Yesu n'agamba nti: “Simooni, Simooni, Sitaani asabye akkirizibwe okubawewa mmwe ng'eŋŋaano. 32Naye nze nkusabidde ggwe, okukkiriza kwo kuleme kuggwaawo. Era ggwe bw'olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.”
33Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, neetegese okugenda naawe mu kkomera. Era neetegese okufa naawe.”
34Yesu n'agamba nti: “Peetero, nkugamba nti olwaleero, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.”
35Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temututte nsawo ziterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, wadde engatto, waaliwo kye mwetaaga ne mutakifuna?” Ne baddamu nti: “Tewaali.”#Laba ne Mat 10:9-10; Mak 6:8-9; Luk 9:3; 10:4 36N'abagamba nti: “Naye kaakano oyo alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n'oyo alina ensawo ng'ey'abasabiriza naye akole bw'atyo. Era atalina kitala, atunde ekkooti ye akigule, 37kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa nti: ‘Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka,’ kiteekwa okutuukirizibwa ku nze. Ebyo ebifa ku nze biteekwa okutuukirizibwa.”#Laba ne Yis 53:12
38Abayigirizwa ne bagamba nti: “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri wano.” Ye n'abagamba nti: “Kimala!”
Yesu yeegayirira Katonda
(Laba ne Mat 26:36-46; Mak 14:32-42)
39Awo Yesu n'afuluma, n'alaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, nga bwe yali amanyidde okukola. Abayigirizwa be nabo ne bagenda naye. 40Bwe yatuukayo, n'abagamba nti: “Mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.”
41Awo ye n'abaawukanako ebbanga ng'ery'ejjinja erikasukibwa we likoma, n'afukamira ne yeegayirira Katonda. 42N'agamba nti: “Kitange, bw'oyagala, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona, naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” [ 43Awo malayika n'ava mu ggulu n'amulabikira, n'amugumya. 44Ng'ali mu bulumi bungi, ne yeeyongera okwegayirira ennyo Katonda, era entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi nga gatonnya wansi.]#22:43-44 Ebiwandiiko ebimu ebyedda tebirina bigambo ebiri mu 22:43-44.
45Awo bwe yasituka ng'ava okwegayirira Katonda, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'okunakuwala. 46N'abagamba nti: “Lwaki mwebaka? Mugolokoke, mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.”
Okukwatibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 26:27-56; Mak 14:43-50; Yow 18:3-11)
47Yesu yali akyayogera, ekibiina ky'abantu ne kijja, nga kikulembeddwa oyo ayitibwa Yuda omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'asemberera Yesu okumunywegera. 48Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yuda, olyamu Omwana w'Omuntu olukwe ng'omunywegera?”
49Abayigirizwa abaali beetoolodde Yesu bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, tuteme n'ebitala?” 50Awo omu ku bo n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo.
51Kyokka Yesu n'agamba nti: “Mukome ku ekyo!” N'akwata ku kutu kw'omuddu oyo, n'amuwonya.
52Awo Yesu n'agamba bakabona abakulu n'abakuumi b'Essinzizo, n'abantu abakulu mu ggwanga abajja okumukwata, nti: “Muzze nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? 53Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo, ne mutankwata. Naye kino kye kiseera kyammwe, era kye kiseera ky'obuyinza bw'ekizikiza.”#Laba ne Luk 19:47; 21:37
Peetero yeegaana Yesu
(Laba ne Mat 26:57-58,69-75; Mak 14:53-54,66-72; Yow 18:12-18,25-27)
54Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala mu nnyumba ya Ssaabakabona, Peetero n'agoberera nga yeesuddeko ebbanga. 55Bwe baamala okukuma omuliro mu luggya wakati, ne batuula wamu. Peetero n'atuula wamu nabo. 56Awo omuzaana omu bwe yamulaba ng'atudde mu kitangaala eky'omuliro, n'amwekkaanya, n'agamba nti: “N'ono yali ne Yesu.” 57Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Mukazi ggwe, omuntu oyo simumanyi.”
58Era nga wayiseewo akaseera, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, si bwe kiri!”
59Ate nga wayiseewo ekiseera kya ssaawa nga emu, omuntu omulala n'akakasa ng'agamba nti: “Ddala n'ono yali wamu ne Yesu, kubanga naye Mugalilaaya.” 60Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, simanyi ky'ogamba!” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima. 61Mukama waffe n'akyuka n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, nga bwe yali amugambye nti: “Olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” 62Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo.
Okukudaalirwa n'okukubibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 26:67-68; Mak 14:65)
63Awo abasajja abaali bakuuma Yesu nga musibe, ne bamukudaalira nga bwe bamukuba. 64Ne bamubikka ku maaso, ne bamubuuza nti: “Tulage, ani akukubye?” 65Ne bamwogerako n'ebirala bingi ebivuma.
Yesu mu maaso g'olukiiko
(Laba ne Mat 26:59-66; Mak 14:55-64; Yow 18:19-24)
66Awo obudde bwe bwakya, abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne baleeta Yesu mu lukiiko lwabwe. 67Ne bagamba nti: “Tubuulire oba nga ggwe Kristo.” N'abagamba nti: “Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza, 68era ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu. 69Naye okuva kati, Omwana w'Omuntu agenda kutuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.”
70Bonna ne bagamba nti: “Kwe kugamba, ggwe oli Mwana wa Katonda?” Ye n'abagamba nti: “Nga bwe mugambye, nze wuuyo.”
71Ne bagamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Ffe ffennyini tuwulidde ebigambo by'ayogedde.”
Currently Selected:
LUKKA 22: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.