LUKKA 24
24
Okuzuukira kwa Yesu
(Laba ne Mat 28:1-10; Mak 16:1-8; Yow 20:1-10)
1Awo ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, abakazi ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyobuwoowo bye baategeka. 2Ne basanga ng'ejjinja liyiringisiddwa ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana. 3Ne bayingira, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu.
4Awo olwatuuka, baali bakyasamaaliridde olw'ekyo, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo, nga bambadde engoye ezinekaaneka. 5Abakazi bwe baatya ne bakutama ne batunula wansi ku ttaka, abasajja ne babagamba nti: “Lwaki munoonyeza omulamu mu bafu? 6Taliiwo wano, azuukidde. Mujjukire nga bwe yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, ng'agamba nti:#Laba ne Mat 16:21; 17:22-23; 20:18-19; Mak 8:31; 9:31; 10:33-34 Luk 9:22; 18:31-33 7Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'abantu aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”
8Ne bajjukira ebigambo bye, 9ne bava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira abayigirizwa ekkumi n'omu, n'abalala bonna. 10Ebyo abaabibuulira abatume, baali Mariya Magudaleena, Yowanna, ne Mariya nnyina Yakobo, n'abalala abaali nabo.
11Ebigambo ebyo ne bifaananira abatume ng'eby'okugereesa, ne batabikkiriza. 12Kyokka Peetero n'asituka, n'adduka, n'alaga ku ntaana, n'akutama, n'alaba engoye nga ziri zokka, n'avaayo nga yeewuunya ebibaddewo.#24:12 Ebibaddewo: Ebiwandiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno (Laba ne Yow 20:3-10).
Mu kkubo ly'e Emmaawo
(Laba ne Mak 16:12-13)
13Ku lunaku lwe lumu olwo, babiri ku bo baali balaga mu kabuga erinnya lyako Emmaawo, kilomita nga kkumi okuva e Yerusaalemu. 14Baali banyumya bokka na bokka ku ebyo byonna ebibaddewo. 15Awo olwatuuka, nga banyumya era nga beebuuzaganya, ne Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo. 16Kyokka amaaso gaabwe gaaziyizibwa okumwekkaanya, baleme okumutegeera. 17N'abagamba nti: “Mboozi ki eyo gye munyumya nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu. 18Omu ku bo, erinnya lye Kulewopa n'amuddamu nti: “Ggwe muntu wekka ali mu Yerusaalemu atamanyi bibaddewo mu nnaku zino?”
19N'ababuuza nti: “Biki?” Ne bagamba nti: “Ebifa ku Yesu Omunazaareeti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bye yakolanga, ne mu bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna; 20era nga bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 21Ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Yisirayeli. N'ebyo byonna nga biri awo, luno olunaku lwakusatu kasookedde bino bibaawo. 22Naye ate abakazi abamu ab'ewaffe, abaabadde ku ntaana ku makya ennyo, batuwuniikirizza, 23bwe batasanzeeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti mulamu. 24Abamu ku bannaffe baalaze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe baagambye, kyokka ye tebaamulabye.”
25Awo Yesu n'abagamba nti: “Basirusiru mmwe, era abalwawo okukkiriza byonna abalanzi bye baayogera! 26Kristo yali tateekwa kubonyaabonyezebwa ebyo byonna alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27Awo Yesu n'abannyonnyola ebimwogerako mu byawandiikibwa byonna, ng'atandikira ku bya Musa, n'ayongera n'eby'abalanzi bonna.
28Ne basemberera akabuga gye baali balaga, ye n'aba ng'akyeyongerayo mu maaso. 29Ne bamwegayirira nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buwungedde, era enjuba emaze okugwa.” N'ayingira okubeera nabo. 30Awo olwatuuka, bwe yali atudde nabo okulya, n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agubawa. 31Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera, kyokka n'ababulako, nga tebakyamulaba. 32Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?”
33Ne basituka mu kaseera ako kennyini, ne baddayo e Yerusaalemu, ne basanga abayigirizwa ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo, nga bakuŋŋaanye, 34nga bagamba nti: “Ddala Mukama waffe azuukidde, alabikidde ne Simooni.” 35Ne bano ne banyumya ebyabaddewo mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenyaamenyamu omugaati.
Yesu alabikira abayigirizwa be
(Laba ne Mat 28:16-20; Mak 16:14-18; Yow 20:19-23; Bik 1:6-8)
36Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Emirembe gibe nammwe!” 37Ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu. 38Awo n'abagamba nti: “Lwaki mweraliikiridde? Era lwaki okubuusabuusa kuno kuzze mu mitima gyammwe? 39Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange. Nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe, anti omuzimu teguba na mubiri na magumba nga bwe mundaba nga mbirina.”
40Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye. 41Awo nga tebannaba kukkiriza, nga beewuunya olw'essanyu, n'abagamba nti: “Wano mulinawo ekyokulya?” 42Ne bamuwa ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye. 43N'akitoola, n'akirya nga balaba.
44N'abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyawandiikibwa nga binjogerako mu mateeka ga Musa ne mu bitabo by'abalanzi ne mu Zabbuli, biteekwa okutuukirizibwa.” 45Olwo n'atangaaza amagezi gaabwe bategeere ebyawandiikibwa, 46n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo ateekwa okubonaabona n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu, 47era nti mu linnya lye, obubaka obw'okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi buteekwa okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna, okusookera ku Yerusaalemu. 48Mmwe bajulirwa b'ebyo. 49Era nze nja kubaweereza ekirabo, Kitange kye yabasuubiza. Naye mubeere mu kibuga, okutuusa lwe mulifuna amaanyi agava mu ggulu.”#Laba ne Bik 1:4
Yesu atwalibwa mu ggulu
(Laba ne Mak 16:19-20; Bik 1:9-11)
50Awo Yesu n'abatwala ebweru w'ekibuga, n'agenda nabo e Betaniya, n'agolola emikono gye, n'abawa omukisa.#Laba ne Bik 1:9-11 51Awo olwatuuka, ng'akyabawa omukisa, n'ava we bali, natwalibwa mu ggulu. 52Ne bamusinza, ne baddayo e Yerusaalemu nga bajjudde essanyu lingi. 53Ne babeeranga mu Ssinzizo bulijjo, nga batendereza Katonda.
Currently Selected:
LUKKA 24: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: