LUKKA 3:4-6
LUKKA 3:4-6 LBWD03
Bino byabaawo nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti: “Waliwo eddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge. Buli kiwonvu kijjuzibwe; buli lusozi na buli kasozi biseeteezebwe. Amakubo amakyamu gagololwe, n'agalimu ebisirikko gatereezebwe. Olwo abantu bonna bajja kulaba nga Katonda bw'abalokola.’ ”