LUKKA 5:5-6
LUKKA 5:5-6 LBWD03
Simooni n'amugamba nti: “Mukama wange, ekiro kyonna twateganye ne tutakwasa kantu. Naye olw'okubanga olagidde, obutimba ka mbutege.” Awo bwe baabutega, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo, era obutimba bwabwe ne buba kumpi okukutuka.