LUKKA Ennyanjula
Ennyanjula
Amawulire Amalungi aga Yesu Kristo Agaawandiikibwa Lukka, galaga nga Yesu ye Mulokozi eyasuubizibwa Yisirayeli, era nga ye Mulokozi w'abantu bonna. Lukka awandiika nti Yesu yatumibwa Mwoyo wa Katonda okulangirira eri abanaku Amawulire Amalungi.
Amawulire Amalungi gano Agaawandiikibwa Lukka, gajjudde okulumirwa abantu abalina ebyetaago ebya buli ngeri. Ebyogera ku ssanyu bikwata ekifo kya ku mwanjo mu Lukka, naddala mu mitwe egisooka omuli ebifa ku kujja kwa Yesu, ne ku nkomerero nga Yesu alinnya mu ggulu. Omuwandiisi ye omu ye anyumya mu Bikolwa by'Abatume enzikiriza y'abagoberezi ba Kristo nga bwe yakula n'ebuna wangi, nga Yesu amaze okulinnya mu ggulu.
Ebitundu ebimu, gamba ng'ebyo ebyogera ku kuzaalibwa kwa Yowanne Omubatiza, ku luyimba lwa bamalayika, n'okukyala kw'abasumba nga Yesu azaalibwa, n'ebyogera ku kutwalibwa kwa Yesu mu Ssinzizo nga muto, era n'engero ebbiri olw'Omusamariya omulungi n'olw'omwana eyazaawa, bisangibwa mu Lukka mwokka.
Mu Mawulire Amalungi Agaawandiikibwa Lukka, omuwandiisi aggumiza nnyo okusinza Katonda, era aggumiza nnyo Mwoyo Mutuukirivu, omulimu ogwakolebwa abakazi mu bulamu bwa Yesu, era n'ekisa kya Katonda okusonyiwa ebibi.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Ennyanjula 1:1-4
Okuzaalibwa n'obuto bwa Yowanne Omubatiza n'obwa Yesu 1:5–2:52
Omulimu gwa Yowanne Omubatiza 3:1-20
Okubatizibwa kwa Yesu 3:21–4:13
Omulimu gwa Yesu ogw'olwatu mu Galilaaya 4:14–9:50
Okuva e Galilaaya okugenda e Yerusaalemu 9:51–19:27
Wiiki ya Yesu envannyuma mu Yerusaalemu ne ku miriraano 19:28–23:56
Okuzuukira n'okulabika kwa Yesu n'okulinnya kwe mu ggulu 24:1-53
Currently Selected:
LUKKA Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: