ENTANDIKWA 27
27
Yisaaka awa Yakobo omukisa
1Awo Yisaaka bwe yali ng'akaddiye, era ng'amaaso ge gazzeeko ekifu, nga takyasobola kulaba, n'ayita Esawu mutabani we omukulu, n'amugamba nti: “Mwana wange!” N'addamu nti: “Nzuuno.”
2Yisaaka n'agamba nti: “Olaba bwe nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. 3Kale kaakano, kwata omutego gwo n'obusaale bwo bw'oyiggisa, ogende mu ttale onjiggire ensolo, 4onfumbire ennyama ey'akaloosa gye njagala, ogindeetere ndye, ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.”
5Rebbeeka n'awulira nga Yisaaka ayogera ne mutabani we Esawu. Esawu bwe yagenda mu ttale okuyigga ensolo n'okugireeta, 6Rebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti: “Mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti: 7‘Njiggira ensolo, onfumbire ennyama ey'akaloosa, ngirye, ndyoke nkuwe omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’ 8Kale kaakano mwana wange, wulira bye ŋŋamba, era okole bye nkulagira. 9Genda mu kisibo ky'embuzi, ondeetereyo embuzi ento ennungi bbiri, nzirongoose, nfumbire kitaawo ennyama ey'akaloosa nga bw'ayagala, 10ggwe ogimutwalire alye, alyoke akuwe omukisa nga tannafa.”
11Naye Yakobo n'agamba Rebbeeka nnyina nti: “Omanyi nga muganda wange Esawu musajja wa bwoya, naye olususu olwange luweweevu. 12Oboolyawo taata anankwatako, n'azuula nga mmulimba, ne nneereetako okukolimirwa, mu kifo ky'okuweebwa omukisa.”
13Nnyina n'amugamba nti: “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange, naye wulira kye nkugamba, ogende ondeetere embuzi.”
14N'agenda n'azikwata, n'azireetera nnyina, nnyina n'afumba ennyama ey'akaloosa nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala.
15Rebbeeka n'aggyayo ebyambalo ebya Esawu omwana we omukulu, ebisinga obulungi, bye yali aterese mu nnyumba, n'ayambaza Yakobo omwana we omuto. 16N'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo, ne ku nsingo awatali bwoya. 17N'akwasa omwana we Yakobo ennyama ey'akaloosa, n'emmere bye yali afumbye.
18Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'agamba nti: “Taata!” N'addamu nti: “Nzuuno. Ggwe ani, mwana wange?” 19Yakobo n'agamba kitaawe nti: “Nze Esawu, omwana wo omuggulanda. Nkoze nga bwe wandagidde. Golokoka, otuule olye ku nnyama gye njizze, olyoke ompe omukisa.” 20Yisaaka n'agamba mutabani we nti: “Ogizudde otya amangu bw'otyo, mwana wange?” Yakobo n'addamu nti: “Mukama Katonda wo annyambye.”
21Yisaaka n'agamba Yakobo nti: “Kale sembera wano, nkuweeweeteko, mwana wange, mmanye oba nga ddala gwe mwana wange Esawu.” 22Yakobo n'asemberera Yisaaka kitaawe, Yisaaka n'amuweeweetako, n'agamba nti: “Eddoboozi lya Yakobo, naye emikono gya Esawu!” 23N'atamutegeera, kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng'egya muganda we Esawu. Yali anaatera okumuwa omukisa 24n'amugamba nti: “Ddala ggwe mwana wange Esawu?” N'amuddamu nti: “Nze wuuyo.”
25Yisaaka n'agamba nti: “Nsembereza ebyo by'oyizze, mwana wange, ndye ndyoke nkusabire omukisa.” Yakobo n'abimusembereza, n'alya. Era n'amuleetera n'omwenge ogw'emizabbibu n'anywa. 26Awo Yisaaka kitaawe n'amugamba nti: “Sembera onnywegere, mwana wange!” 27N'asembera, n'amunywegera, Yisaaka n'awunyirwa akawoowo k'ebyambalo bye. N'amuwa omukisa, n'agamba nti:
“Akawoowo ak'omwana wange
kali ng'akawoowo ak'ennimiro
Mukama gy'awadde omukisa.#Laba ne Beb 11:20
28Katonda akuwenga ku musulo
oguva mu ggulu,
era agimusenga ennimiro zo.
Akuwenga eŋŋaano nnyingi
n'omwenge ogw'emizabbibu mungi.
29Abantu bakuweerezenga,
n'amawanga gakuvuunamirenga.
Ofugenga baganda bo
n'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga.
Buli akukolimira akolimirwenga,
era buli akusabira omukisa,
naye gumuweebwenga.”#Laba ne Nta 12:3
Esawu asaba Yisaaka omukisa
30Awo Yisaaka bwe yali nga yaakamala okusabira Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava awali Yisaaka kitaawe, Esawu muganda we n'ayingira ng'ava okuyigga. 31Era naye n'afumba ennyama ey'akaloosa, n'agitwalira kitaawe. N'agamba kitaawe nti: “Taata, golokoka olye ku nnyama nze omwana wo gye njizze, olyoke ompe omukisa.”
32Yisaaka kitaawe n'amugamba nti: “Ggwe ani?” N'addamu nti: “Nze Esawu omwana wo omuggulanda.”
33Yisaaka n'akankana nnyo nnyini, n'agamba nti: “Kale oyo abadde ani eyayizze ensolo n'andeetera ennyama ne ngirya, nga tonajja, ne mmuwa omukisa? Era ddala gulimuweebwa.”
34Esawu bwe yawulira kitaawe by'ayogedde, n'atema emiranga n'akaaba nnyo olw'okunakuwala, n'agamba kitaawe nti: “Taata, nkwegayiridde, nange mpa omukisa.” 35Yisaaka n'agamba nti: “Muganda wo azze n'alimba, n'atwala omukisa gwo.”
36Esawu n'agamba nti: “Si kyeyava ayitibwa Yakobo?#27:36 Yakobo: Mu Lwebureeyi livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Alyazaamaanya.” oba “Akwata ekisinziiro.” Laba ne 25:26. Lyamutuukira ddala bulungi, kubanga guno omulundi gwakubiri ng'atwala ekifo kyange. Yanzigyako obukulu bwange, ne kaakano laba anzigyeeko omukisa gwange.” Awo n'agamba nti: “Nze tonterekeddeeyo ku mukisa?”#Laba ne Nta 25:29-34
37Yisaaka n'addamu nti: “Mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babenga baweereza be, era mmuwadde eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu. Kale kiki kye nnaakukolera ggwe mwana wange?”
38Esawu n'awanjagira kitaawe nti: “Olina omukisa gumu gwokka, taata? Mpa nange omukisa, ayi kitange!” N'aleekaana nnyo, n'akaaba.#Laba ne Beb 12:17
39Awo Yisaaka kitaawe n'amuddamu nti:
“Ennimiro zo teziibengamu bugimu,
era toofunenga musulo oguva mu ggulu.#Laba ne Beb 11:20
40Oneeyimirizangawo na kitala kyo,
era onooweerezanga muganda wo.
Naye bw'olyesumattula,
olyeyambula ekikoligo kye mu bulago bwo.”#Laba ne Nta 36:8; 2 Bassek 8:20
41Esawu n'akyawa Yakobo, olw'omukisa kitaawe gwe yamuwa. Esawu n'agamba mu mutima gwe nti: “Ennaku ez'okukungubagira kitange ng'afudde, zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, nditta muganda wange Yakobo.”
42Rebbeeka bwe yawulira ebyo Esawu omwana we omukulu by'ateesa okukola, n'atumya Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti: “Laba muganda wo, ateesa okukutta, alyoke yeemale ekiruyi. 43Kale kaakano, mwana wange, kola kye nkugamba. Situka, oddukire ewa mwannyinaze Labani mu kibuga Harani, 44obeere naye okumala akaseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana, 45ne yeerabira kye wamukola. Olwo ndituma ne nkuggyayo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
46Rebbeeka n'agamba Yisaaka nti: “Obulamu bwange bwetamiddwa abakazi Abahiiti! Yakobo bw'aliwasa omukazi Omuhiiti, obulamu bwange buliba bukyangasa ki?”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 27: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: