ENTANDIKWA 28:20-22
ENTANDIKWA 28:20-22 LB03
Awo Yakobo ne yeeyama obweyamo buno eri Mukama nti: “Bw'onoobanga awamu nange, n'onkuumanga mu lugendo lwange luno, era bw'onompanga ebyokulya n'ebyokwambala, era bw'olinkomyawo emirembe mu nnyumba ya kitange, olwo onoobanga Katonda wange. Ejjinja lino lye nsimbye okuba ekijjukizo, liriba nnyumba yo, ayi Katonda, era ndikuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bintu byonna by'olimpa.”