YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 29

29
Yakobo atuuka mu maka ga Labani
1Yakobo n'ayongera okutambula, n'atuuka mu nsi y'abantu ab'ebuvanjuba. 2Bwe yatunula, n'alaba oluzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga, nga zigalamidde awo awali oluzzi, kubanga mu luzzi omwo, mwe baanywesezanga amagana. Lwalina ejjinja eddene erirusaanikira. 3Amagana gonna bwe gaakuŋŋaananga, awo abasumba ne bayiringisa ejjinja eryo, ne banywesa endiga, ne balyoka bazzaawo ejjinja okusaanikira oluzzi.
4Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Baganda bange, muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva Harani.” 5N'ababuuza nti: “Mumanyi Labani, mutabani wa Nahori?” Ne baddamu nti: “Tumumanyi.” 6N'abuuza nti: “Mulamu?” Ne baddamu nti: “Mulamu, era ne muwala we Raakeeli wuuyo ajja n'endiga.”
7Yakobo n'agamba nti: “Obudde buubuno bukyali misana, obw'okukuŋŋaanya amagana tebunnatuuka. Munywese endiga, mugende muzirunde.” 8Ne bagamba nti: “Tetuyinza. Amagana gonna gamala kukuŋŋaanyizibwa, ne tuyiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, ne tulyoka tunywesa endiga.”
9Yakobo yali akyayogera nabo, Raakeeli n'ajja n'endiga za kitaawe, kubanga ye yazirundanga. 10Yakobo bwe yalaba Raakeeli muwala wa kojjaawe Labani awamu n'endiga za kojjaawe oyo, n'agenda n'ayiringisa ejjinja okusaanukula oluzzi, n'anywesa endiga za Labani kojjaawe. 11N'anywegera Raakeeli, n'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka. 12Yakobo n'ategeeza Raakeeli nti: “Ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Rebbeeka.” Raakeeli n'adduka okubuulira kitaawe.
13Awo Labani bwe yawulira nga Yakobo omwana wa mwannyina azze, n'adduka okumusisinkana. N'amugwa mu kifuba, n'amunywegera n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labani byonna. 14Labani n'agamba nti: “Mazima oli wa musaayi gwange, era wa munda nnyo.” Yakobo n'amala naye omwezi gumu.
Yakobo aweereza Labani okufuna Raakeeli ne Leeya
15Labani n'agamba Yakobo nti: “Tojja kumpeererezanga bwereere newaakubadde oli waaluganda. Mbuulira, oyagala mpeera ki?” 16Labani yalina bawala be babiri, omukulu erinnya lye ye Leeya, omuto nga ye Raakeeli. 17Amaaso ga Leeya gaali tegasikiriza, naye Raakeeli yali mulungi, n'amaaso ge nga gasanyusa. 18Yakobo n'ayagala Raakeeli, n'agamba nti: “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Raakeeli muwala wo omuto.”
19Labani n'agamba nti: “Okumuwa ggwe kisinga okumuwa omusajja omulala. Beera nange.” 20Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Raakeeli, ne gimulabikira ng'ennaku entono, olw'okwagala kwe yamwagalamu.
21Awo Yakobo n'agamba Labani nti: “Mpa muwala wo mmuwase, kubanga ekiseera kiweddeko.” 22Labani n'ayita abantu bonna ab'omu kifo ekyo, n'akola embaga. 23Naye ekiro ekyo n'addira muwala we Leeya n'amutwalira Yakobo, ne yeegatta naye. 24Labani n'awaayo omuzaana we Zilupa eri muwala we Leeya, okuba omuzaana we. 25Enkeera ku makya, Yakobo lwe yamanya nti oyo ye Leeya. N'agamba Labani nti: “Kino kiki ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Raakeeli? Kale lwaki onnimbye?”
26Labani n'addamu nti: “Tekikolebwa mu nsi yaffe okuwaayo omuto, n'asooka omukulu okufumbirwa. 27Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala, singa onompeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.”
28Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labani n'amuwa muwala we Raakeeli okuba mukazi we. 29Labani n'awaayo omuzaana we Biliha eri muwala we Raakeeli, okuba omuzaana we. 30Yakobo era ne Raakeeli ne yeegatta naye, n'amwagala okusinga Leeya. N'aweereza Labani okumala emyaka emirala musanvu.
Abaana ba Yakobo
31Mukama bwe yalaba nga Leeya tayagalibwa nga Raakeeli, n'amuwa okuzaala, naye Raakeeli yali mugumba. 32Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Rewubeeni,#29:32 Rewubeeni: Mu Lwebureeyi “Reuben,” kwe kugamba nti: “Laba omutabani,” era oba nti: “Alabye okubonaabona kwange.” kubanga yagamba nti: “Mukama alabye okubonaabona kwange, kaakano baze ananjagala.”
33N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi n'agamba nti: “Mukama yawulira nga ssaagalibwa kyavudde era ampa omwana ono.” N'amutuuma erinnya Simyoni.#29:33 Simyoni: Mu Lwebureeyi liva mu kigambo “Shama” ekitegeeza “yawulira.” 34N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'agamba nti: “Omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” Kyeyava amutuuma erinnya Leevi.#29:34 Leevi: Mu Lwebureeyi liva mu kigambo “Lavah” kwe kugamba nti “yeegasse.” 35N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi. N'agamba nti: “Omulundi guno nja kutendereza Mukama.” Kyeyava amutuuma erinnya Yuda.#29:35 Yuda: Mu Lwebureeyi liva mu “Hodah” ekitegeeza “Okutendereza.” N'alekera awo okuzaala.

Currently Selected:

ENTANDIKWA 29: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in