YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 33

33
Yakobo asisinkana Esawu
1Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja ng'ali wamu n'abasajja ebikumi bina. Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Raakeeli, n'abazaana bombi. 2N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'asembyayo Raakeeli ne Yosefu emabega.
3Ye yennyini n'abakulemberamu, n'avuunama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we. 4Naye Esawu n'adduka okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amuwambaatira, n'amunywegera, bombi ne bakaaba amaziga.
5Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti: “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti: “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omuweereza wo.” 6Awo abazaana ne basembera nga bali wamu n'abaana baabwe, ne bavuunama. 7Era ne Leeya n'abaana be, ne basembera, ne bavuunama. Oluvannyuma Yosefu ne Raakeeli nabo ne basembera, ne bavuunama.
8Naye Esawu n'agamba nti: “Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye, kitegeeza ki?” Yakobo n'addamu nti: “Kya kwagala kusiimibwa mu maaso go, mukama wange.”
9Naye Esawu n'agamba nti: “Bye nnina bimmala, muganda wange. By'olina bibe bibyo.” 10Yakobo n'agamba nti: “Nedda, nkwegayiridde! Bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, kkiriza ekirabo ekiva mu ngalo zange, kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira. 11Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyonna kye nkuleetedde, kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, n'ampa byonna bye neetaaga.” N'amwegayirira, Esawu n'akkiriza.
12Awo Esawu n'agamba nti: “Tukwate ekkubo, tugende, nze nja kukukulemberamu.” 13Yakobo n'addamu nti: “Mukama wange, omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa. 14Nkwegayiridde mukama wange, ggwe kulembera, nange omuweereza wo, najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.”
15Esawu n'agamba nti: “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti: “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga nsiimiddwa mu maaso go, mukama wange.” 16Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo e Seyiri. 17Naye Yakobo n'agenda e Sukkoti ne yeezimbirayo ennyumba, era n'akolera ensolo ze engo. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa erinnya Sukkoti.#33:17 Sukkoti: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Lugo.”
18Yakobo bwe yava e Paddanaraamu, n'atuuka mirembe mu kibuga kye Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanaani, n'asiisira okumpi n'ekibuga. 19N'agula ettaka ku bazzukulu ba Hamori kitaawe wa Sekemu, ebitundu kikumi ebya ffeeza, n'asimba eweema ye.#Laba ne Yos 24:32; Yow 4:5 20N'azimbayo alutaari n'agituuma erinnya ELI ELOWE YISIRAYELI.#33:20 Eli Elowe Yisirayeli: Mu Lwebureeyi “El-Elohe-Israeli,” kwe kugamba “Eli, Katonda wa Yisirayeli.”

Currently Selected:

ENTANDIKWA 33: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in