YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 35

35
Katonda awa Yakobo omukisa e Beteli
1Katonda n'agamba Yakobo nti: “Situka oyambuke e Beteli, obeere eyo, onzimbireyo alutaari, nze Katonda eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”#Laba ne Nta 28:11-17
2Awo Yakobo n'agamba ab'omu nnyumba ye, n'abo bonna abaali naye nti: “Muggyeewo balubaale abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebiyonjo, 3tusituke, twambuke e Beteli, era eyo Katonda nja kumuzimbirayo alutaari, kubanga yannyamba mu kiseera mwe nabeerera mu buzibu, era yabanga nange buli we nagendanga.”
4Ne bawa Yakobo balubaale bonna be baalina, n'empeta ezaali mu matu gaabwe. Yakobo n'abiziika wansi w'omuti okumpi ne Sekemu.
5Yakobo n'abaana be bwe baatambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera. 6Awo Yakobo awamu n'abantu be bonna abaali naye, ne batuuka e Luuzi, ye Beteli, ekiri mu nsi ya Kanaani. 7N'azimbayo alutaari n'agituuma erinnya Eli Beteli,#35:7 Eli Beteli: mu Lwebureeyi, kitegeeza “Katonda w'e Beteli.” kubanga eyo Katonda gye yeeyolekera Yakobo, bwe yadduka muganda we. 8Debora omulezi wa Rebbeeka n'afa, ne bamuziika mu bukiikaddyo obwa Beteli, wansi w'omuti. Omuti ogwo ne bagutuuma erinnya Alooni Bakuti.#35:8 Alooni Bakuti: Mu Lwebureeyi “Alon Bakuth,” ekitegeeza “Omuti ogw'okukaaba amaziga.”
9Yakobo bwe yava mu Paddanaraamu, Katonda n'amulabikira nate, n'amuwa omukisa, 10Katonda n'amugamba nti: “Erinnya lyo ggwe Yakobo. Naye okuva kati, Yisirayeli lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Yisirayeli.#Laba ne Nta 32:28 11Katonda n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Zaala abaana bangi. Eggwanga n'ekibiina eky'amawanga birisibuka mu gwe, era oliba jjajja wa bakabaka.#Laba ne Nta 17:4-8 12Era ensi gye nawa Aburahamu ne Yisaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa ne bazzukulu bo abaliddawo.” 13Katonda n'ava awali Yakobo, 14Yakobo n'asimba empagi ey'amayinja mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, n'agifukako ekiweebwayo ekinywebwa, era n'omuzigo.#Laba ne Nta 28:18-19 15Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Beteli.
Okufa kwa Raakeeli
16Awo Yakobo n'ab'omu maka ge ne bava mu Beteli, ne batambula. Baali babulako katono okutuuka mu Efuraati, ebiseera bya Raakeeli eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo. 17Awo bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti: “Totya kubanga ogenda kuzaala omwana ow'obulenzi omulala.” 18Bwe yali ng'anaatera okufa, n'atuuma omwana erinnya Benoni.#35:18 Benoni: Mu Lwebureeyi “Ben Oni” ekitegeeza “Omwana gwe nzaalidde mu bulumi.” Naye kitaawe n'amutuuma Benyamiini.#35:18 Benyamiini: mu Lwebureeyi kitegeeza “Omwana aliba ow'omukisa.”
19Raakeeli n'afa, ne bamuziika ku kkubo erigenda e Efuraati, ye Betilehemu. 20Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge. Empagi eyo ye eramba amalaalo ga Raakeeli n'okutuusa kati. 21Yisirayeli ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi.
Batabani ba Yakobo
(Laba ne 1 Byom 2:1-2)
22Awo Yisirayeli bwe yali ng'akyali mu nsi eyo, Rewubeeni n'agenda ne yeebaka ne Biliha omuzaana wa kitaabwe, Yisirayeli n'akimanya.
Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri:#Laba ne Nta 49:4 23Batabani ba Leeya be bano: Rewubeeni omwana wa Yakobo omubereberye, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Yissakaari, ne Zebbulooni. 24Batabani ba Raakeeli: Yosefu ne Benyamiini. 25Batabani ba Biliha, omuzaana wa Raakeeli: Daani ne Nafutaali. 26Batabani ba Zilupa, omuzaana wa Leeya: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa mu Paddanaraamu.
Okufa kwa Yisaaka
27Awo Yakobo n'ajja eri kitaawe Yisaaka e Mamure mu kibuga Asaba, ye Heburooni, Aburahamu ne Yisaaka mwe baabeeranga.#Laba ne Nta 13:18 28Yisaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana, 29n'afa ng'akaddiye nnyo, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Abaana be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.

Currently Selected:

ENTANDIKWA 35: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in