ENTANDIKWA 39:11-12
ENTANDIKWA 39:11-12 LB03
Naye lwali lumu, Yosefu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye, era nga tewali baweereza ba mu nnyumba balala. Omukazi n'akwata Yosefu ekyambalo, ng'amugamba nti: “Weebake nange.” Naye Yosefu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi, n'adduka n'afuluma ebweru.