YouVersion Logo
Search Icon

YOWANNE 21

21
Yesu alabikira abayigirizwa musanvu
1Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey'e Tiberiya. Yabalabikira bw'ati: 2Simooni Peetero, ne Tomasi, ayitibwa Omulongo, ne Natanayili ow'e Kaana eky'e Galilaaya, ne batabani ba Zebedaayo, n'abayigirizwa ba Yesu abalala babiri, bonna baali wamu. 3Simooni Peetero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvuba.”
Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasa kantu.#Laba ne Luk 5:5 4Obudde bwali bwakakya, Yesu n'ayimirira ku lubalama, kyokka abayigirizwa, ne batamanya nti ye Yesu. 5Awo Yesu n'abagamba nti: “Abalenzi, mukutteyo akookulya?” Ne bamuddamu nti: “Nedda.”
6N'abagamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, era ne batayinza kukannyulula, olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa.#Laba ne Luk 5:6
7Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga, n'agamba Peetero nti: “Oyo ye Mukama waffe.” Simooni Peetero bwe yawulira nti oyo ye Mukama, ne yeesiba olugoye, (kubanga yali bwereere), ne yeesuula mu mazzi.
8Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato, nga basika akatimba akalimu ebyennyanja. Tebaali wala n'olukalu, naye nga balwesudde mita nga kikumi. 9Awo bwe baavaamu, ne batuuka ku lukalu, ne balaba omuliro ogw'amanda, nga guteekeddwako ebyennyanja, n'omugaati. 10Awo Yesu n'abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.”
11Simooni Peetero n'agenda, n'asaabala, n'awalula akatimba, n'akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo, akatimba tekaakutuka. 12Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulye.” Naye ku bayigirizwa, tewali yategana kumubuuza nti: “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama. 13Yesu n'ajja, n'atoola omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.
14Guno gwe mulundi ogwokusatu, Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng'amaze okuzuukira.
Yesu ne Peetero
15Bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala okusinga bano bwe banjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga abaana b'endiga zange.”
16Era n'amugamba omulundi ogwokubiri nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Lundanga endiga zange.”
17N'amugamba omulundi ogwokusatu nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” Peetero n'anakuwala, kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti: “Onjagala?” N'amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi byonna, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga endiga zange. 18Mazima ddala nkugamba nti bwe wali omuvubuka, weesibanga, n'ogenda gy'oyagala. Naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba, n'akutwala gy'otoyagala.”
19Ekyo Yesu yakyogera, ng'alaga enfa, Peetero gy'alifaamu, okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera ekyo, n'agamba Peetero nti: “Ngoberera.”
20Peetero bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba omuyigirizwa oyo omulala, ng'agoberera. Omuyigirizwa oyo, ye oli Yesu gwe yayagalanga, era eyagalamira okumpi n'ekifuba kya Yesu nga balya, n'amubuuza nti: “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?”#Laba ne Yow 13:25
21Awo Peetero bwe yalaba oyo, n'agamba Yesu nti: “Mukama wange, ate ono aliba atya?” 22Yesu n'amuddamu nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? Ggwe goberera nze.”
23Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Sso Yesu teyamugamba nti talifa, wabula nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?”
24Oyo ye muyigirizwa akakasa bino, era ye yabiwandiika. Tumanyi nga by'ayogera bya mazima.
Ebifundikira
25Waliwo n'ebirala bingi Yesu bye yakola. Nabyo singa biwandiikibwa kinnakimu, ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.

Currently Selected:

YOWANNE 21: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in