LUKKA 1
1
Ennyanjula
1Oweekitiibwa ennyo Tewofilo: Bangi bagezezzaako okuwandiika n'obwegendereza ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe. 2Baawandiika ebyatubuulirwa abo abaabirabirako ddala okuva ku ntandikwa yaabyo, era abaakola omulimu ogw'okubunyisa Ekigambo kya Katonda. 3Nange bwe neetegerezza byonna okuva ku ntandikwa yaabyo, ndabye nti kirungi okubikuwandiikira nga bwe biddiriŋŋana. 4Kino nkikoze, olyoke omanyire ddala amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa.
Okuzaalibwa kwa Yowanne Omubatiza kulangibwa
5Kabaka Herode bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zakariya, ow'omu kitongole kya bakabona ekya Abiya. Yalina mukazi we erinnya lye Elisaabeeti, nga muzzukulu wa Arooni. 6Bombi baali bantu balungi mu maaso ga Katonda, nga bakwata bulungi ebiragiro bya Mukama byonna n'amateeka ge. 7Baali tebalina mwana, kubanga Elisaabeeti yali mugumba, ate bombi baali bakaddiye.
8Lwali lumu, Zakariya yali akola omulimu gwe ogw'obwakabona, mu maaso ga Katonda, ng'ekitongole kye yalimu kye kiri mu luwalo. 9Yalondebwa na kalulu, ng'empisa ya bakabona bwe yali, n'ayingira mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo, okunyookeza obubaane. 10Mu kiseera ekyo eky'okunyookeza obubaane, abantu bonna abaali bakuŋŋaanye, baali wabweru nga basinza Katonda.
11Awo malayika wa Mukama n'ayimirira ku ludda olwa ddyo olw'ekyoterezo ky'obubaane, n'alabikira Zakariya. 12Zakariya bwe yamulaba ne yeesisiwala, entiisa n'emukwata. 13Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga Katonda awulidde okwegayirira kwo: mukazi wo Elisaabeeti alikuzaalira omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yowanne. 14Olisanyuka n'ojaguza, era n'abalala bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe, 15kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama. Talinywa mwenge gwa mizabbibu, newaakubadde ekitamiiza ekirala kyonna. Alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu nga tannaba kuva mu lubuto lwa nnyina.#Laba ne Kubal 6:3 16Alikomyawo Abayisirayeli bangi eri Mukama Katonda waabwe. 17Aliweebwa omwoyo n'obuyinza nga Eliya bye yalina, n'akulembera Mukama okuzza emitima gya bakitaabwe b'abaana eri abaana baabwe, n'okuzza abajeemu mu kkubo ly'abantu abalungi, alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”#Laba ne Mal 4:5-6
18Awo Zakariya n'agamba nti: “Kino nnaakikakasiza ku ki? Nze neekaddiyidde, ne mukyala wange naye akaddiye.”
19Malayika n'amuddamu nti: “Nze Gabulyeli, ayimirira bulijjo mu maaso ga Katonda nga mmuweereza. Ntumiddwa okwogera naawe, n'okukutegeeza amawulire gano amalungi.#Laba ne Dan 8:16; 9:21 20Kale nno nga bw'otokkirizza bye nkutegeezezza, ebirituukirira ng'ekiseera kyabyo kituuse, ojja kuziba omumwa, obe nga tokyasobola kwogera, okutuusa ku lunaku bino lwe birituukirira.”
21Mu kiseera ekyo, abantu baali balindirira Zakariya, era nga beewuunya ekimulwisizza mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo. 22Bwe yafuluma n'atasobola kwogera nabo, ne bamanya nti wabaddewo ekitali kya bulijjo ky'alabye mu Ssinzizo. Olw'obutasobola kwogera, n'abategeeza mu bubonero, n'asigala ng'azibye omumwa.
23Awo ennaku ze ez'okuweereza bwe zaggwaako, n'addayo ewuwe. 24Bwe waayitawo ekiseera, Elisaabeeti mukazi we n'aba olubuto, n'amala emyezi etaano nga teyeeraga mu bantu, ng'agamba nti: 25“Mukama ye annyambye okuba bwe nti, n'ankwatirwa ekisa mu kiseera kino, n'anzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
Okuzaalibwa kwa Yesu kulangibwa
26Elisaabeeti yali yaakamala emyezi mukaaga ng'ali lubuto, Katonda n'atuma malayika Gabulyeli mu kibuga eky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazaareeti, 27ew'omuwala embeerera, erinnya lye Mariya, eyali ayogerezebwa omusajja ayitibwa Yosefu, muzzukulu wa Ssekabaka Dawudi.#Laba ne Mat 1:18 28Malayika bwe yatuuka w'ali, n'agamba nti: “Nkulamusa, ggwe aweereddwa omukisa; Mukama ali naawe!” 29Mariya ne yeeraliikirira nnyo olw'ebigambo ebyo, era ne yeebuuza mu mutima gwe kye bitegeeza. 30Awo malayika n'amugamba nti: “Mariya, totya, kubanga Katonda akuwadde omukisa: 31ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi, omutuume erinnya lye Yesu. 32Aliba wa buyinza, era aliyitibwa Mwana wa Katonda Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa obwakabaka bwa Dawudi jjajjaawe.#Laba ne 2 Sam 7:12,13,16; Yis 9:7 33Alifuga bazzukulu ba Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”
34Mariya n'abuuza malayika nti: “Eky'okuba olubuto kinaatuukirira kitya, nga simanyi musajja?” 35Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, era amaanyi ga Katonda Atenkanika ganaaba naawe, n'olwekyo omwana alizaalibwa aliyitibwa Mutuukirivu, Mwana wa Katonda. 36Muganda wo Elisaabeeti, newaakubadde yayitibwanga mugumba, era nga mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng'ali lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi, 37kubanga tewali Katonda ky'ayogera kitayinzika.”#Laba ne Nta 18:14
38Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wa Mukama; nzikirizza, kibe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali, n'agenda.
Mariya akyalira Elisaabeeti
39Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka, n'alaga mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya, 40n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya, n'alamusa Elisaabeeti. 41Awo olwatuuka, Elisaabeeti bwe yawulira Mariya ng'amulamusa, omwana n'azannya mu lubuto lwa Elisaabeeti. Era Elisaabeeti n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, 42n'akangula nnyo ku ddoboozi, n'agamba nti: “Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala bonna, n'omwana gw'olizaala yaweebwa omukisa. 43Kale mpeereddwa ntya ekitiibwa kino, nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira? 44Bwe mpulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asamba olw'essanyu, mu lubuto lwange. 45Oli wa mukisa ggwe eyakkiriza nti ebyo Mukama bye yakutegeeza birituukirira.”
Mariya atendereza Katonda
46Awo Mariya n'agamba nti:
“Omutima gwange
gugulumiza Mukama.#Laba ne 1 Sam 2:1-10
47Omwoyo gwange gusanyukira
Katonda Omulokozi wange,
48kubanga akwatiddwa ekisa
omuzaana we ataliiko bw'ali.
Okuva kati,
abantu ab'emirembe gyonna
banampitanga wa mukisa,#Laba ne 1 Sam 1:11
49olw'ebikulu
Nnannyinibuyinza by'ankoledde.
Erinnya lye ttukuvu!
50Era mu buli mulembe,
akwatirwa ekisa abamutya.
51Alaze obuyinza bwe
mu byamagero by'akola.
Abeekulumbaza mu birowoozo byabwe,
abasaasaanyizza.
52Awanudde ab'obuyinza
ku ntebe zaabwe,
n'agulumiza abeetoowaze.#Laba ne Yob 5:11; 12:19
53Abali mu bwetaavu
abawadde ebirungi,
abagagga n'abagoba
nga tebalina kantu.
54Ayambye Yisirayeli omuweereza we,
nga bwe yasuubiza bajjajjaffe.
55Ajjukidde okukwatirwa ekisa
Aburahamu n'ezzadde lye
emirembe gyonna.”#Laba ne Nta 17:7
56Mariya yamala n'Elisaabeeti emyezi ng'esatu, n'adda eka.
Okuzaalibwa kwa Yowanne Omubatiza
57Awo ennaku za Elisaabeeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi. 58Baliraanwa be ne baganda be ne bawulira nga Mukama bw'amukwatiddwa ekisa ekingi, ne basanyukira wamu naye.
59Awo ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana. Baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zakariya.#Laba ne Leev 12:3 60Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Nedda, anaatuumibwa Yowanne.”
61Ne bamugamba nti: “Mu b'olulyo lwo teri n'omu ayitibwa linnya eryo!” 62Awo ne beeyambisa obubonero, ne babuuza kitaawe w'omwana erinnya ly'ayagala batuume omwana.
63Zakariya n'asaba ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika nti: “Erinnya ly'omwana ye Yowanne.” Bonna ne beewuunya. 64Amangwago omumwa gwa Zakariya ne guzibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'atendereza Katonda.
65Awo abantu bonna ababaliraanye ne batya. Era ebigambo bino byonna ne bibuna mu kitundu kyonna ekya Buyudaaya eky'ensozi, 66Bonna abaabiwulira, ne bibayingira mu mitima, ne bagamba nti: “Kale omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga obuyinza bwa Mukama bwali naye nga bumuyamba.
Oluyimba lwa Zakariya
67Awo Zakariya kitaawe wa Yowanne, n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, n'alanga, ng'agamba nti:
68“Mukama Katonda wa Yisirayeli
atenderezebwe,
kubanga akyalidde abantu be
era abanunudde.
69Atuwadde Omulokozi ow'obuyinza,
asibuka mu lulyo lwa Dawudi
omuweereza we,
70nga bwe yasuubiriza edda
mu balanzi be abatukuvu,
71okutuwonya abalabe baffe,
n'okutuggya mu mikono
gya bonna abatukyawa.
72Yasuubiza okukwatirwa
bajjajjaffe ekisa,
n'okujjukira
endagaano ye entukuvu.
73Yalayira n'akakasa
Aburahamu jjajjaffe,
nti tuliggyibwa mu mikono
gy'abalabe baffe,
74tulyoke tumuweereze
awatali kutya,
75nga tuli beesimbu
era batukuvu mu maaso ge,
obulamu bwaffe bwonna.
76Naawe omwana,
oliyitibwa mulanzi
wa Katonda Atenkanika,
kubanga olikulembera Mukama,
okulongoosa amakubo ge,#Laba ne Mal 3:1
77n'okumanyisa abantu be
nti alibalokola,
ng'abasonyiwa ebibi byabwe,
78kubanga Katonda waffe ajjudde ekisa.
Oyo alinga enjuba evaayo,
alitukyalira ng'ava mu ggulu,
79okwakira abo
abali mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky'olumbe,
n'okuluŋŋamya ebigere byaffe
mu kkubo ery'emirembe.”#Laba ne Yis 9:2
80Omwana n'agenda ng'akula, era nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abanga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga abantu ba Yisirayeli.
Currently Selected:
LUKKA 1: LB03
Highlight
Share
Copy
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: