LUKKA 11
11
Yesu ayigiriza ku kusinza Katonda
(Laba ne Mat 6:9-13; 7:7-11)
1Lwali lumu, Yesu yali mu kifo ekimu ng'asinza Katonda. Bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusinza Katonda, nga Yowanne bwe yayigiriza abayigirizwa be.” 2Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe mubanga musinza Katonda, mugambanga nti:
‘Kitaffe,
erinnya lyo lyatulwe nga
bwe liri ettukuvu,
Obwakabaka bwo bujje.
3Otuwe buli lunaku
emmere gye twetaaga.
4Era otusonyiwe ebibi byaffe,
kubanga naffe tusonyiwa
buli akola ebitulumya.
Era totuleka kukemebwa.’ ”
5Awo n'abagamba nti: “Singa omu ku mmwe aba ne mukwano gwe, n'agenda gy'ali ettumbi n'amugamba nti: ‘Munnange, mpola emigaati esatu, 6kubanga mukwano gwange atuuse ng'ava lugendo, ate sirina kye mmuwa’; 7kyokka oli, ng'ali mu nnyumba, n'addamu nti: ‘Tonteganya, oluggi nalusibye dda, era abaana bange nange tuli mu buliri. Siyinza kugolokoka kukuwa.’ 8Mbagamba nti newaakubadde taagolokoke kumuwa olw'okuba mukwano gwe, kyokka olw'okumuteganya, anaagolokoka n'amuwa kyonna kye yeetaaga. 9Kale mbagamba nti musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone ku luggi, muliggulirwawo, 10kubanga buli asaba afuna, anoonya azuula, n'akonkona ku luggi aggulirwawo. 11Era ani ku mmwe kitaawe w'omwana, awa omwana we omusota mu kifo ky'ekyennyanja ky'amusabye, 12oba amuwa enjaba ey'obusagwa ng'asabye eggi? 13Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa Mwoyo Mutuukirivu abamumusaba?”
Yesu ne Beeluzebuli
(Laba ne Mat 12:22-30; Mak 3:20-27)
14Yesu yali agoba ku muntu omwoyo omubi era gukasiru. Awo omuntu oyo kasiru, omwoyo omubi bwe gwamuvaako, n'atandika okwogera. Abantu ne beewuunya. 15Kyokka abamu ku bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa Beeluzebuli omukulu waagyo.”#Laba ne Mat 9:34; 10:25 16N'abalala ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.#Laba ne Mat 12:38; 16:1; Mak 8:11
17Kyokka bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe gaba maka, gasasika. 18Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obwakabaka bwe bunaasigalawo butya? Mmwe mugamba nti ngoba emyoyo emibi ku bantu, nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli. 19Kale oba nga nze ngoba emyoyo emibi nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kyebaliva babasalira mmwe omusango. 20Naye oba ng'emyoyo emibi ngigoba ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda butuuse mu mmwe.
21“Omuntu ow'amaanyi, alina ebyokulwanyisa, bw'akuuma ennyumba ye, ebintu bye biba mirembe. 22Kyokka amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, atwala ebyokulwanyisa bye by'abadde yeesiga, n'ebintu bye ebinyage n'abigaba.
23“Ataba ku ludda lwange, mulabe wange, era atannyamba kukuŋŋaanya, asaasaanya.#Laba ne Mak 9:40
Okudda kw'omwoyo omubi
(Laba ne Mat 12:43-45)
24“Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gutazuulawo, gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ 25Bwe gudda, gugisanga ng'eyereddwa, era ng'etegekeddwa bulungi. 26Olwo ne gugenda ne guleeta emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma, n'eba mbi okusinga eyasooka.”
Abasinga okuba ab'omukisa
27Awo olwatuuka, Yesu bwe yali akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina ky'abantu, n'ayimusa eddoboozi n'amugamba nti: “Olubuto mwe wakulira lwa mukisa, n'amabeere agaakuyonsa ga mukisa!” 28Kyokka Yesu n'agamba nti: “Abasinga okuba ab'omukisa beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.”
Okusaba akabonero
(Laba ne Mat 12:38-42)
29Awo Yesu, abantu bangi bwe baakuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti: “Abantu b'omulembe guno bantu babi! Basaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kubaweebwa okuggyako akabonero ka Yona.#Laba ne Mat 16:4; Mak 8:12 30Kale nga Yona bwe yali akabonero eri abantu b'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'ajja okuba eri abantu b'omulembe guno.#Laba ne Yon 3:4 31Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y'ensi n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba asinga Solomooni ali wano.#Laba ne 1 Bassek 10:1-10; 2 Byom 9:1-12 32Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga, kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda, naye laba asinga Yona ali wano.#Laba ne Yon 3:5
Ekitangaala ky'omubiri
(Laba ne Mat 5:15; 6:22-23)
33“Omuntu takoleeza ttaala n'agikweka mu kinnya oba mu kibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala.#Laba ne Mat 5:15; Mak 4:21; Luk 8:16 34Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu. Naye bwe litaba ddamu, omubiri gwo gujjula ekizikiza. 35Kale nno weetegereze oba ng'obutangaavu mu ggwe, si kizikiza. 36Kale singa omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu, era nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gulitangaalira ddala, ng'ettaala bw'ekumulisa n'ekitangaala kyayo.”
Yesu avumirira Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka
(Laba ne Mat 23:1-36; Mak 12:38-40)
37Yesu bwe yamaliriza okwogera ebyo, Omufarisaayo n'amusaba okulya naye ekyemisana. Awo Yesu n'ayingira n'atuula okulya. 38Omufarisaayo ne yeewuunya okulaba nga Yesu tasoose kunaaba nga tannalya. 39Awo Mukama waffe n'amugamba nti: “Mmwe Abafarisaayo mwoza kungulu wa bikopo, na kungulu wa bibya. Naye mu mitima gyammwe mujjudde obunyazi n'ebibi. 40Basirusiru mmwe! Oyo eyatonda ebyokungulu, si ye yatonda n'ebyomunda? 41Naye ebiri mu ndeku n'ebiri mu bibya mubigabire abaavu, olwo ebintu byonna bijja kubabeerera birongoofu.
42“Naye mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Muwa ekimu eky'ekkumi ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mulagajjalira obwenkanya n'okwagala Katonda. Bino biteekwa okukolebwa, na biri nga tebiragajjalirwa.#Laba ne Leev 27:30
43“Mmwe Abafarisaayo, muli ba kubonaabona! Mwagala ebifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n'okulamusibwa mu butale. 44Muli ba kubonaabona mmwe! Muli ng'amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako ne batagamanya nti malaalo.”
45Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'amugamba nti “Muyigiriza, bw'oyogera bw'otyo, nga naffe otuvumye.” 46Yesu n'agamba nti: “Nammwe abannyonnyozi b'amateeka, muli ba kubonaabona! Mulagira abantu okwetikka emigugu egiteetikkika, mmwe mwennyini ne mutagikwatako wadde n'olugalo lwammwe olumu. 47Muli ba kubonaabona mmwe! Muzimba amalaalo g'abalanzi, sso nga battibwa bajjajjammwe. 48Bwe mutyo mulaga nti musiima bajjajjammwe bye baakola. Bo batta abalanzi, ate mmwe ne muzimba amalaalo g'abalanzi abo. 49N'olwekyo Amagezi ga Katonda kyegava gagamba nti: ‘Ndibatumira abalanzi n'abatume, abamu ku bo balibatta, n'abalala balibayigganya.’ 50Omusaayi gw'abalanzi bonna ogwayiibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi, kyeguliva guvunaanibwa abantu b'omulembe guno, 51okuva ku musaayi gwa Abeeli, okutuuka ku gwa Zakariya eyattirwa wakati wa alutaari, n'ekifo ekitukuvu mu Ssinzizo. Weewaawo, mbagamba nti gulivunaanibwa abantu b'omulembe guno.#Laba ne Nta 4:8; 2 Byom 24:20-21
52“Muli ba kubonaabona mmwe abannyonnyozi b'amateeka! Mwaggyawo ekisumuluzo ekisumulula oluggi olw'okumanya, mmwe mwennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza abo abaali bayingira.”
53Yesu bwe yava mu kifo ekyo, abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okumuketta ennyo n'okumukemereza okwogera ku bintu bingi, 54nga bamutega okumukwasa mu bigambo by'ayogera.
Currently Selected:
LUKKA 11: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: