LUKKA 16
16
Omuwanika omukumpanya
1Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we. Oyo ne bamumuloopera nti asaasaanyizza ebintu bye. 2Awo n'amuyita n'amugamba nti: ‘Kino kye nkuwuliddeko kiri kitya? Nnyonnyola ebifa ku buwanika bwo, kubanga tokyayinza kusigala ng'oli muwanika.’ 3Omuwanika ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika? Sirina maanyi ga kulima, ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza. 4Kati mmanyi kye nnaakola, balyoke bannyanirize mu nnyumba zaabwe nga ngobeddwa ku buwanika.’
5“Awo n'ayita buli alina ebbanja lya mukama we. N'agamba eyasooka nti: ‘Mukama wange akubanja ki?’ 6N'addamu nti: ‘Endebe z'omuzigo ebikumi bibiri.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa. Tuula mangu, owandiike kikumi.’ 7Olwo n'agamba omulala nti: ‘Ate ggwe obanjibwa ki?’ N'addamu nti ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa, owandiike kinaana.’
8“Awo omuwanika ono omukumpanya n'atendebwa mukama we olw'amagezi ge yasala. Abantu ab'ensi bagezigezi okusinga abantu ab'ekitangaala, mu nkolagana yaabwe. 9Mbagamba nti mwefunire emikwano nga mugaba ku bugagga obw'ensi, bwe buliba nga tebukyagasa, mulyoke mwanirizibwe mu maka ag'olubeerera.
10“Oyo aba omwesigwa ku kitono, aba mwesigwa ne ku kinene; n'oyo ataba mwesigwa ku kitono, taba mwesigwa ne ku kinene. 11Kale bwe mutaba beesigwa mu bugagga obw'ensi, ani alibateresa obugagga bwennyini? 12Era bwe mutaba beesigwa ku bya mulala, ebyammwe ani alibibawa?
13“Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri, kubanga alikyawa omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.”#Laba ne Mat 6:24
Amateeka ga Musa n'Obwakabaka bwa Katonda
(Laba ne Mat 11:12-13; 5:13-32; Mak 10:11-12)
14Awo Abafarisaayo abaali abaagazi b'ebyobugagga, ne bawulira ebyo byonna, ne basekerera Yesu. 15Ye n'abagamba nti: “Mmwe muli bantu abeefuula abalungi mu maaso g'abantu, kyokka Katonda amanyi emitima gyammwe. Abantu kye bagulumiza, kiba kya muzizo mu maaso ga Katonda.
16“Amateeka ga Musa n'ebyawandiikibwa abalanzi bye byaliwo okutuusa Yowanne Omubatiza lwe yajja. Naye okuva olwo, Obwakabaka bwa Katonda bwe butegeezebwa abantu ng'Amawulire Amalungi, era buli muntu afuba okubuyingiramu olw'amaanyi.#Laba ne Mat 11:12-13 17Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga akanukuta akamu okuggyibwa mu mateeka ga Musa.#Laba ne Mat 5:18
18“Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze. Era oyo awasa omukazi agobeddwa bba, aba ayenze.#Laba ne Mat 5:32; 1 Kor 7:10-11
Omugagga ne Laazaro
19“Waaliwo omuntu omugagga, eyayambalanga engoye eza kakobe, n'engoye ezinekaaneka, era eyabeeranga mu bulamu obw'okwejalabya buli lunaku. 20Waaliwo n'omwavu, erinnya lye Laazaro, eyali ajjudde amabwa, era eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo. 21Laazaro ono yeegombanga okulya n'okukkuta obukunkumuka bw'emmere obwagwanga, nga buva ku mmeeza y'omugagga. Era embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge.
22“Awo olwatuuka, omwavu oyo n'afa, n'atwalibwa bamalayika awali Aburahamu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. 23Ng'ali mu bulumi bungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Aburahamu, n'alengera ne Laazaro awali Aburahamu. 24Awo n'akoowoola ng'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nkwatirwa ekisa otume Laazaro, annyike akasammambiro k'olunwe lwe mu mazzi, avubirize olulimi lwange, kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’
25“Aburahamu n'agamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nti ebirungi ebibyo wabifuna ng'okyali mulamu, ye Laazaro n'afuna ebitali birungi. Kaakati ye wano asanyuka, nga ggwe oli mu bulumi obungi. 26Ate ebyo byonna ng'obitadde ku bbali, waateekebwawo olukonko lunene wakati waffe nammwe, abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebayinza, era tewali ayinza kuva eyo okujja gye tuli.’
27“Awo omugagga n'agamba nti: ‘Kale nno ssebo, nkwegayiridde, tuma Laazaro mu nnyumba ya kitange, 28kubanga nninayo baganda bange bataano, agende abalabule, sikulwa nga nabo bajja mu kifo kino eky'obulumi obungi.’
29“Aburahamu n'agamba nti: ‘Balina amateeka ga Musa n'abalanzi, bawulirenga abo.’ 30Omugagga n'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nedda, naye singa wabaawo azuukira n'agenda gye bali, baneenenya.’ 31Aburahamu n'agamba nti: ‘Oba nga tebawulira Musa na balanzi, tebajja kukkiriza newaakubadde wabaawo azuukira.’ ”
Currently Selected:
LUKKA 16: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: