LUKKA 23:44-45
LUKKA 23:44-45 LB03
Awo essaawa zaali nga mukaaga ez'emisana, enjuba n'erekayo okwaka era ekizikiza ne kibikka ensi yonna, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo. Olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.