1
ENTANDIKWA 11:6-7
Luganda Bible 2003
Mukama n'agamba nti: “Laba bano bonna bali bumu, era boogera olulimi lumu. Eno nno ye ntandikwa y'ebyo bye balikola. Tewali kye baagala kukola kiribalema. Kale tukke tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
Compara
Explorar ENTANDIKWA 11:6-7
2
ENTANDIKWA 11:4
Ne bagamba nti: “Twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka ku ggulu, twekolere erinnya, era tuleme kusaasaanyizibwa ku nsi yonna.”
Explorar ENTANDIKWA 11:4
3
ENTANDIKWA 11:9
Ekibuga ekyo ne kiyitibwa Babeeli, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi yonna, era okuva awo, n'asaasaanya abantu ku nsi yonna.
Explorar ENTANDIKWA 11:9
4
ENTANDIKWA 11:1
Ensi yonna yalina olulimi lumu n'ebigambo bye bimu ebyogerwa.
Explorar ENTANDIKWA 11:1
5
ENTANDIKWA 11:5
Awo Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abantu bye bazimba.
Explorar ENTANDIKWA 11:5
6
ENTANDIKWA 11:8
Awo Mukama n'abasaasaanya ku nsi yonna, ne balekera awo okuzimba ekibuga.
Explorar ENTANDIKWA 11:8
Inici
La Bíblia
Plans
Vídeos