Yokaana 1
1
Yesu Kigambo afuuka omuntu
(1:1-18)
1Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.#1 Yok 1:1,2, Yok 17:5, Kub 19:13 2Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda.#Nge 8:22 3Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaali kintu na kimu ekyakolebwa. #Bak 1:16,17, Beb 1:2 4Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.#Yok 5:26 5Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.#Yok 3:19 6Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana.#Luk 1:13-17,57-80, Mat 3:1, Mak 1:4 7Oyo yajja ng'omujulirwa ategeeze eby'omusana, bonna balyoke bakkirize ku bubwe. #Luk 3:3 8Oyo si ye musana, wabula omujulirwa ategeeza eby'omusana. #Yok 1:20 9Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi. 10Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera.#Yok 1:3-5 11Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. 12Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye;#Bag 3:26 13abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.#Yok 3:5,6 14Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gyetuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.#Is 7:14, 2 Peet 1:16,17, Is 60:1, Luk 9:32 15Yokaana n'amutegeeza ng'ayogerera waggulu nti, “Oyo gwe nnagamba nti ‘Ajja oluvannyuma lwange ansinga nze, kubanga ye yali wa lubereberye ku nze.’ ”#Yok 1:27,30, Mat 3:11 16Kubanga ku kujjula kwe fenna twaweebwa, ekisa ekyeyongera ku kisa.#Yok 3:34, Bak 1:19 17Kubanga amateeka gaaweebwa nga gayita mu Musa; ekisa n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.#Bar 6:14; 10:4, Kuv 34:6, Zab 25:10; 40:10; 85:10 18Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, abeera mu kifuba kya Kitaffe oyo ye yategeeza bwali.#Yok 6:46, 1 Yok 4:12, Mat 11:27, Luk 10:22, 1 Tim 6:16
Obubonero Kristo bwe yakola okuyigiriza bwali
(1:19—12:50)
Obujulirwa bwa Yokaana Omubatiza
(Mat 3:1-12, Mak 1:1-8, Luk 3:1-18)
19Buno bwe bujulirwa bwa Yokaana bwe yategeeza Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti, “Ggwe ani?”#Luk 3:15,16,20, Bik 13:25 20N'ayatula, n'ateegaana; nnabategeeza nti, “Si nze Kristo.” 21Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” N'agamba nti, “Si nze ye.” “Ggwe nnabbi oli?” N'addamu nti, “Nedda.”#Mat 17:10, Ma 18:15, Yok 6:14; 7:40 22Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani? Tulyoke tuddemu abatutumye. Weeyita ani?” 23Yokaana n'abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.”#Is 40:3, Mat 3:3, Mak 1:3, Luk 3:4 24Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo. 25Ne bamubuuza, ne bamugamba nti, “Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?” #Mat 21:25 26Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti, “Nze mbatiza na mazzi: wakati mu mmwe wayimiridde omuntu gwe mutamanyi,#Mat 3:11, Mak 1:7,8 27ajja oluvannyuma lwange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.”#Yok 3:26, Bik 13:25 28Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.#Mat 3:6,13
Omwana gw'endiga owa Katonda
29Olunaku olwokubiri Yokaana n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!#Yok 1:36, Is 53:7 30Ye wuuyo gwe nnayogerako nti, ‘Emabega wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.’#Yok 1:15,27 31Nange saamumanya: naye nze najja nga mbatiza na mazzi, ye alyoke ayolesebwe eri Isiraeri.” 32Yokaana n'abategeeza ng'agamba nti, “Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.#Mat 3:16, Mak 1:10, Luk 3:22 33Nange saamumanya; naye yantuma kubatiza na mazzi, ye yaŋŋamba nti, ‘Ggw'oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.’#Luk 3:2, Mat 3:16 34Nange ne ndaba, era mbakakasa nti oyo ye Mwana wa Katonda.”#Mat 3:17
Abayigirizwa ba Yesu ababereberye
35Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'abamu ku bayigirizwa be babiri; 36n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti, “Laba, Omwana gw'endiga owa Katonda!”#Yok 1:29, Is 53:7 37Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. 38Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti, “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti, “Labbi” (amakulu gaakyo nti Omuyigiriza), “osula wa?” 39N'abagamba nti, “Mujje, munaalabawo.” Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi (10). 40Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera.#Mat 4:18-22 41Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti, “Tulabye Kristo,” amakulu gaakyo nti Eyafukibwako amafuta.#1 Sam 2:10, Zab 2:2 42N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa,” (amakulu gaalyo nti Peetero, eritegeeza nti Olwazi).#Mat 16:18, Mak 3:16
Yesu ayita Firipo ne Nassanayiri
43Olunaku olwaddako Yesu n'asalawo okugenda e Ggaliraaya, n'asanga Firipo, n'amugamba nti, “Ngoberera.”#Mat 8:22, Mak 2:14 44Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero. 45Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti, “Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.”#Ma 18:18, Is 7:14; 53:2, Yer 23:5, Ez 34:23 46Nassanayiri n'amugamba nti, “Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo n'amugamba nti, “Jjangu olabe.”#Yok 7:41,52 47Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti, “Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!”#Zab 32:2; 73:1, Lub 25:27 48Nassanayiri n'amugamba nti, “Wantegeerera wa?” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.” 49Nassanayiri n'amuddamu nti, “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda; ggwe Kabaka wa Isiraeri.”#2 Sam 7:14, Yok 6:69, Zab 2:7, Mat 14:33; 16:16 50Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? Oliraba ebikulu okukira ebyo.” 51N'amugamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.” #Lub 28:12, Mat 4:11, Mak 1:13
S'ha seleccionat:
Yokaana 1: LBR
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: