Lukka 24
24
Eby'okuzuukira kwa Yesu
(24:1-53)
Yesu azuukira okuva mu bafu
(Mat 28:1-10, Mak 16:1-8, Yok 20:1-10)
1Awo ku lunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, abakazi ne bajja ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategeka.#Mak 16:1-8, Yok 20:1-13 2Ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa okuva ku mulyango gw'entaana. 3Ne bayingiramu, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu. 4Awo olwatuuka bwe baali basamaaliridde olw'ekyo, laba, abantu babiri ne bayimirira we baali, nga bambadde engoye ezimasamasa; 5awo bwe baali battidde, nga bakutamye ng'amaaso gaabwe gatunudde wansi, ne babagamba nti, “ Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu?” 6Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya, 7ng'agamba nti, “ Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukira.” #Mat 17:22,23 8Awo ne bajjukira ebigambo bye, 9ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n'omu (11), n'abalala bonna. 10Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala abali awamu nabo ne babulira abatume ebigambo ebyo.#Luk 8:2,3 11Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maaso g'abatume nga bya busirusiru; ne batakkiriza. 12Naye Peetero n'asituka n'adduka, n'agenda ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo.
Yesu alabikira abaali bagenda e Emawo
(Mak 16:12-13)
13Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga (60).#Mak 16:12,13 14Baali banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo. 15Awo olwatuuka baali nga banyumya era nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo.#Mat 18:20 16Naye amaaso gaabwe ne gaziyizibwa baleme okumutegeera. 17N'abagamba nti, “ Bigambo ki ebyo bye mwebuuzaganya nga mutambula?” Ne bayimirira nga bawootedde. 18Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti, “ Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?” 19N'ababuuza nti, “ Bigambo ki ebyo?” Ne bamugamba nti, “ Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna:#Mat 21:11 20ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera. 21Naye ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo.#Luk 1:68; 2:38; 19:11, Bik 1:6 22Era abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana;#Luk 24:1-11 23bwe bataasanzeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu. 24N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe bagambye, kyokka ye tebaamulabye.”#Luk 24:12, Yok 20:3-10 25Kale ye n'abagamba nti, “ Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima era abalwawo okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga; 26tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo byonna, alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikwako.#Ma 18:15, Zab 22:1-21, Is 53:1-12 28Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso. 29Ne bamuwaliriza nga bagamba nti, “Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano.” N'ayingira okutuula nabo. 30Awo olwatuuka bwe yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa.#Luk 22:19 31Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; naye n'ababulako nga tebakyamulaba. 32Ne beebuuzaganya nti, “ Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?” 33Ne basituka mu kiseera ekyo ne baddayo e Yerusaalemi, ne basanga bali ekkumi n'omu (11), n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye 34nga bagamba nti, “ Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni.” 35Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, era ne bwe yategeerekese gyebali olw'okumenyamu omugaati.#1 Kol 15:4,5
Yesu alabikira abayigirizwa be
(Mat 28:16-20, Mak 16:14-18, Yok 20:19-23, Bik 1:6-8)
36Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti, “ Emirembe gibe nammwe.” #Mak 16:14-18, Yok 20:19-23, 1 Kol 15:5 37Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu.#Mat 14:26 38N'abagamba nti, “ Ekibeeraliikiriza kiki? N'okubuusabuusa kujjira ki mu mitima gyammwe? 39Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo.” 40Bwe yamala okwogera ekyo, n'abalaga engalo ze n'ebigere. 41Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti, “ Mulina ekiriibwa wano?” #Yok 21:5,10 42Ne bamuwa ekitundu eky'ekyennyanja ekyokye. 43N'akitoola n'akiriira mu maaso gaabwe.
44N'abagamba nti, “ Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.” #Luk 9:22,45; 18:31-33 45N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa; 46n'abagamba nti, “ Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olwokusatu;#1 Tim 3:16 47era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggyibwako ebibi mu linnya lye, okusookera ku Yerusaalemi. 48Mmwe bajulirwa b'ebyo. 49Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu.” #Yok 15:26; 16:7, Bik 1:4
Yesu atwalibwa mu ggulu
(Mak 16:19-20, Bik 1:9-11)
50Awo Yesu n'abatwala ebweru n'abatuusa e Bessaniya: n'ayimusa emikono gye n'abawa omukisa.#Mak 16:19, Bik 1:4-14 51Awo olwatuuka ng'akyabawa omukisa, n'abaawukanako, n'atwalibwa mu ggulu. 52Nabo ne bamusinza, ne bakomawo e Yerusaalemi n'essanyu lingi:#Yok 16:22; 14:28 53ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda.
S'ha seleccionat:
Lukka 24: LBR
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: