Lukka 12
12
1 #
Mat 16:6, Mak 8:15 Mu biro ebyo abantu b'ekibiina obukumi n'obukumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyagana nga balinnyagana, n'asookera ku bayigirizwa be okubagamba nti Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi. 2#Luk 8:17#Mat 10:26-33Naye tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakisibwa ekitalitegeerwa. 3Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogeredde mu kutu mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba. 4Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma abatalina kigambo kya kukola ekisingawo. 5Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga. 6Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. 7#Luk 21:18Naye n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe musinga enkazaluggya ennyingi. 8Era mbagamba nti Buli alinjatulira mu maaso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu naye alimwatulira mu maaso ga bamalayika ba Katonda; 9#Luk 9:26naye anneegaanira mu maaso g'abantu alyegaanirwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 10#Mat 12:32, Mak 3:28,29Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo avvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa. 11#Luk 21:14,15, Mat 10:19,20Era bwe babaleetanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera; 12kubanga Omwoyo Omutukuvu anaabayigirizanga mu kiseera ekyo ebibagwanidde okwogera.
13Awo omuntu ow'omu kibiina n'amugamba nti Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby'obusika bwaffe. 14#Bik 7:27Naye ye n'amugamba nti Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi wammwe? 15#1 Tim 6:9,10N'abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo. 16N'abagerera olugero ng'agamba nti Waaliwo omuntu omugagga, ennimiro ye n'eyeza: 17n'alowooza munda mu ye ng'agamba nti Nnaakola ntya, kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange? 18N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuŋŋaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange. 19Ndigamba emmeeme yange nti Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby'emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke. 20#Beb 9:27Naye Katonda n'amugamba nti Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by'otegese binaaba by'ani? 21#Mat 6:20Bw'atyo bw'ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda.
22 #
Mat 6:25-33
N'agamba abayigirizwa be nti Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala. 23Kubanga obulamu businga emmere, n'omubiri gusinga ebyokwambala. 24#Zab 147:9Mulowooze bannamuŋŋoona, bwe batasiga so tebakungula; abatalina tterekero, newakubadde eggwanika; era Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi? 25Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera ku bukulu bwe omukono ogumu? 26Kale bwe mutayinza ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikiriza ebirala? 27Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go. 28Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono? 29Nammwe temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, so temubanga na myoyo egibuusabuusa. 30Kubanga ebintu ebyo byonna binoonyezebwa amawanga ag'ensi: naye Kitammwe amanyi nga mwetaaga ebyo. 31Naye munoonye obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwako. 32#Luk 22:29, Is 41:14Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka. 33#Luk 18:22#Mat 6:20,21Mutundenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu; omubbi gy'atasembera, n'ennyenje gye zitayonoonera. 34Kubanga obugagga bwammwe gye buli, n'emitima gyammwe gye giribeera.
35 #
Kuv 12:11, 1 Peet 1:13 #
Mat 24:42-51
Mwesibenga ebimyu mu biwato byammwe, n'ettabaaza zammwe nga zaaka; 36#Mat 25:1-13nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangu ago. 37#Yok 13:4Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja b'alisanga nga batunula; mazima mbagamba ng'alyesiba n'abatuuza ku mmere, n'ajja n'abaweereza. 38Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo. 39#1 Bas 5:2Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. 40Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.
41Peetero n'agamba nti Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe nantiki bonna? 42#2 Tim 2:15Mukama waffe n'agamba nti Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? 43Alina omukisa omuddu oyo mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. 44#Mat 25:21Mazima mbagamba ng'alimusigira byonna by'ali nabyo. 45Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atanula okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; 46kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza. 47#Yak 4:17N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi; 48naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.
49Najja kusuula muliro ku nsi; nagwo oba nga kaakano gwaka, njagala ki? 50#Mat 20:22; 26:38, Yok 12:27Naye nnina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nange nga mbonaabona okutuusa lwe kulituukirizibwa! 51#Mat 10:34-36Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti Nedda; wabula okwawukana obwawukanyi; 52kubanga okutanula kaakano walibaawo bataano mu nnyumba emu nga baawukanye, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. 53#Mi 7:6Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we.
54 #
Mat 16:2,3 N'agamba ebibiina nabyo nti Bwe mulaba ekire nga kyekuluumulula ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo. 55Bwe mulaba empewo ng'efuluma bukiika obwa ddyo mugamba nti Linaaba bbugumu; era bwe kiba. 56Bannanfuusi, mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya okukebera obudde buno? 57Era nammwe mwekka ekibalobera kiki okusala eby'ensonga? 58#Mat 5:25,26Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukuwalulira ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera. 59Nkugamba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusa lw'olisasulirira ddala buli ssente.
S'ha seleccionat:
Lukka 12: LUG68
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: