Lukka 20:46-47

Lukka 20:46-47 LUG68

Mwekuumenga abawandiisi, abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.