Luk 21:25-27

Luk 21:25-27 BIBU1

“Walirabika obubonero mu njuba ne mu mwezi ne mu mmunyeenye; ate mu nsi amawanga galyeraliikirira olw'okuwuluguma kw'ennyanja n'amayengo; abantu balizirika olw'okutya n'okulindirira ebigenda okujjira ensi yonna; kubanga amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa. Awo baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.

Llegeix Luk 21