Luk 24
24
1 #
Mat 28,1-8; Mar 16,1-8; Yow 20,1-13. Naye ku lusooka mu wiiki, ku makya, ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyakaloosa bye baali bategese. 2Ne basanga ejjinja nga liyiringisiddwa okuva ku ntaana; 3naye bwe baayingira, omubiri gwa Yezu ne batagulabamu. 4Ekyo kyali kikyabasobezza, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezimasamasa. 5Ne batya, ne bakoteka emitwe wansi; bo ne babagamba nti: “Munyoonyeza ki omulamu mu bafu? 6#Mat 16,21; 17,22-23; 20,18-19; Mar 8,31; 9,31; 10,33-34; Luk 9,22; 18,31-33.Muno taliimu; azuukidde; mujjukire kye yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, 7bwe yagamba nti: ‘Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.’ ” 8Awo ne bajjukira ebigambo bye.
9Bwe baava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira ekkumi n'omu n'abalala bonna. 10Mariya Magudalena ne Yowannina ne Mariya nnyina Yakobo wamu n'abakazi abalala be baabuulira ebyo Abatume. 11Naye ebigambo ebyo ne bibafaananira ng'eby'akalogojjo, ne batabikkiriza.
12Petero n'asituka, n'agenda mbiro ku ntaana. Bwe yakutama n'atunula munda, n'alaba essuuka nga ziri zokka; n'addayo eka nga yeewuunya ekyali kiguddewo.#24,12 Ezimu olunyiriri luno zirulekayo.
Yezu alabikira abaali balaga e Emmawusi
13Ku lunaku olwo era bannaabwe babiri baali bagenda mu kyalo ekiyitibwa Emmawusi, nga kiri sitadiyo nga nkaaga#24,13 Ze kilomita nga 8 n'ekitundu. okuva e Yeruzaalemu. 14Baali bagenda banyumya ku ebyo byonna ebyali biguddewo. 15Bwe baali bakyanyumya nga bwe beewuunaganya, Yezu yennyini n'asembera, n'atambula nabo. 16Naye amaaso gaabwe nga gaziyiziddwa okumutegeera. 17N'abagamba nti: “Bigambo ki ebyo bye mugenda munyumyako nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu. 18Omu ku bo erinnya lye Kulewopa n'ayanukula n'amugamba nti: “Ggwe wekka ggwe mugenyi mu Yeruzaalemu atamanyi biguddewo mu nnaku zino?” 19Ye n'abagamba nti: “Biki?” Bo ne bagamba nti: “Ebifa ku Yezu ow'e Nazareti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bikolwa ne mu bigambo mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna, 20bakabona baffe n'abakulembeze nga bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 21Ffe twali tusuubira nti ye wuuyo ajja okununula Yisirayeli. Ate si kino kyokka, kati luno lwe lwokusatu kasooka ebyo byonna bigwawo. 22Ate abakazi abamu mu b'ewaffe batwewuniikirizza, bwe baagenze ku ntaana mu makya 23omubiri gwe ne batagusangamu, ne bajja bagamba mbu bamalayika baabalabikidde ne babagamba nti mulamu. 24Bannaffe abamu baagenze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe boogedde; ye tebaamusanzeemu.”
25Awo Yezu n'abagamba nti: “Babuyabuya mmwe, abatakkiriza mangu byonna abalanzi bye baayogera! 26Kristu yali tateekeddwa okubonyaabonyezebwa ebyo alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27Awo n'abannyonnyola buli kigambo ekimukwatako mu Biwandiiko ebitukuvu byonna, ng'asookera ku Musa n'Abalanzi bonna. 28Bwe baasemberera ekyalo mwe baali bagenda, ye n'afaanana ng'akyeyongerayo; 29bo ne bamukwatiriza nga bagamba nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buubuno buwungeera n'olunaku luuluno lweyerawo.” N'ayingira, n'asigala nabo.
30Bwe yali atudde nabo okulya, n'akwata omugaati, n'aguwa omukisa, n'agumenyamu n'agubawa. 31Awo amaaso ne gazibuka, ne bamutegeera; naye ye n'ababulako nga tebakyamulaba. 32Ne bagambagana nti: “Emitima gyaffe gyabadde tegitubugujja muli ng'ayogera naffe mu kkubo, ng'atunnyonnyola Ebiwandiiko ebitukuvu?” 33Ne basitukiramu mu kasera ako kennyini, ne baddayo e Yeruzaalemu. Ne basanga ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo nga bakuŋŋaanye, 34nga bagamba nti: “Omukama azuukiridde ddala; alabikidde ne Simoni.” 35Nabo ne banyumya ebyafudde mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenya omugaati.
Yezu alabikira Abatume
36 #
Mar 16,14-19; Yow 20,19-23. Baali bakyayogera ebyo, Yezu yennyini n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe.” 37Bo ne beekanga, ne batya, ne balowooza nga balaba muzimu. 38N'abagamba nti: “Mwesisiwalidde ki? N'ebirowoozo bizze bitya mu mitima gyammwe? 39Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange, nti nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe; manyanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga nze bwe mundaba nabyo.” 40Bwe yamala okwogera ebyo n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye.#24,40 Ezimu olunyiriri luno zirulekayo. 41Naye baali tebanakkiriza olw'essanyu n'okwewuunya; awo ye n'abagamba nti: “Mulinawo wano ekyokulya?” 42Ne bamuleetera ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye. 43N'akikwata n'akirya mu maaso gaabwe.
Akuutira Abatume ogusembayo
44Ate n'abagamba nti: “Ebyo bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyampandiikibwako mu Tteeka lya Musa ne mu Balanzi ne mu Zabbuli tebirirema kutuukirira.” 45Awo n'aggula amagezi gaabwe bategeere Ebiwandiiko ebitukuvu. 46Era n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristu yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olwokusatu, 47era okubonerera n'okusonyiyibwa kw'ebibi kuteekwa okulangirirwa mu linnya lye mu mawanga gonna, okusookera ddala mu Yeruzaalemu. 48Mmwe nno muli bajulirwa ba bino. 49#Ebik 1,4.Nange ntuma mu mmwe Kitange gwe yasuubiza. Musigale mu kibuga okutuusa nga mwambaziddwa amaanyi agava waggulu.”
Okulinnya mu ggulu
50 #
Ebik 1,9-11. Awo n'abafulumya okutuusa ng'e Betaniya; n'asitula emikono gye n'abawa omukisa. 51Bwe yali akyabawa omukisa, n'abavaako, n'atwalibwa mu ggulu. 52Bo ne bamusinza, ne baddayo e Yeruzaalemu n'essanyu lingi, 53ne babeeranga mu Kiggwa nga batendereza Katonda.
S'ha seleccionat:
Luk 24: BIBU1
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

: