ENTANDIKWA 18

18
Aburahamu asuubizibwa omwana
1Awo Mukama n'alabikira Aburahamu awali omuvule gwa Mamure. Aburahamu bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye mu ttuntu, 2n'ayimusa amaaso ge, n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde. Bwe yabalaba, n'adduka mbiro okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka,#Laba ne Beb 13:2 3n'agamba nti: “Mukama wange, kkiriza okyameko ew'omuweereza wo, tomuyitako, nkwegayiridde. 4Ka baleete amazzi munaabe ku bigere, muwummulireko mu kisiikirize ky'omuti, 5nga nange bwe ndeeta akookulya muddemu amaanyi, mulyoke mugende, kubanga we muzze wa muweereza wammwe.” Ne bagamba nti: “Kola bw'otyo nga bw'oyogedde.” 6Aburahamu n'ayanguwa n'ayingira mu weema, n'agamba Saara nti: “Teekateeka mangu ku buwunga obusinga obulungi, obugoye, ofumbe emmere.” 7Awo Aburahamu n'adduka n'ayingira mu ggana, n'alondamu ennyana ennyirivu era ensava, n'agikwasa omuweereza, eyagitta n'agifumba mangu. 8Aburahamu n'addira omuzigo n'amata n'ennyama y'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso g'abasajja abasatu, ye n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.
9Ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saara ali ludda wa?” N'addamu nti: “Ali mu weema.” 10Mukama n'agamba nti: “Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, nja kukomawo, era Saara mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.”#Laba ne Bar 9:9
Saara yali mabega wa Aburahamu ku mulyango gw'eweema, ng'awulira. 11Aburahamu ne Saara baali bakaddiye nnyo, Saara nga takyabeera mu biseera by'empisa y'abakazi eya buli mwezi. 12Saara n'aseka munda ye, n'agamba nti: “Nga bwe mmaze okukaddiwa bwe nti, era nga ne baze naye akaddiye, nkyasobola okufuna ku ssanyu eryo?”#Laba ne 1 Peet 3:6
13Awo Mukama n'agamba Aburahamu nti: “Lwaki Saara asese, n'agamba nti: ‘Ddala ndizaala omwana nga nkaddiye?’ 14Waliwo ekizibuwalira Mukama? Nga bwe nagambye, ndikomawo wano mu kiseera nga kino omwaka ogujja, era Saara aliba azadde omwana wa bulenzi.”#Laba ne Luk 1:37
15Saara ne yeegaana nti: “Sisese,” kubanga yatya. Oli n'addamu nti: “Leka kwegaana, osese.”
Aburahamu awolereza Sodoma
16Awo abasajja ne basituka, ne balaga mu kifo we balengerera Sodoma. Aburahamu n'agenda nabo okubawerekerako. 17Mukama n'agamba nti: “Sijja kukisa Aburahamu kye ŋŋenda okukola, 18kubanga bazzukulu be balifuuka eggwanga eddene ery'amaanyi, era mu ye, amawanga gonna ag'oku nsi mwe galiweerwa omukisa.#18:18 mu ye…mwe galiweerwa omukisa: Oba “Amawanga gonna galinsaba okugawa omukisa nga gwe mpadde ye.” 19Kyennava mmulonda, alyoke alagire abaana be ne bazzukulu be okumpuliranga, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.”
20Awo Mukama n'agamba nti: “Okwemulugunyiza Sodoma ne Gomora nga bwe kuli okungi, era abaayo nga bwe bali aboonoonyi ennyo, 21ka nzikeyo mmanyire ddala oba ng'ebyogerwa ne bintuukako bituufu.”
22Awo abasajja ababiri ne bavaawo ne balaga e Sodoma, naye Aburahamu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama. 23Aburahamu n'asembera kumpi, n'abuuza nti: “Ddala abatalina musango onoobazikiririza wamu n'abalina omusango? 24Mu kibuga bwe munaabeeramu abantu amakumi ataano abatalina musango, onoozikiriza ekibuga kyonna, n'otokisonyiwa olw'abatalina musango amakumi ataano abakirimu? 25Toyinza kukola ekyo, okutta abatalina musango awamu n'abalina musango. Ekyo toyinza kukikola, okubonereza abatalina musango. Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutasala mazima?”
26Mukama n'agamba nti: “Bwe nnaasanga mu Sodoma abantu amakumi ataano abatalina musango, nja kusonyiwa ekibuga kyonna olw'okubeera bo.”
27Aburahamu n'addamu nti: “Nsonyiwa, nze omuntu obuntu, okuguma okwogera naawe Afugabyonna. 28Naye singa ku makumi ataano abatalina musango, kunaabulako abataano, era onoozikiriza ekibuga kyonna, kubanga abataano babulako?” Mukama naddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu amakumi ana mu abataano.” 29Aburahamu era n'agamba nti: “Oboolyawo munaasangibwamu amakumi ana bokka.” Mukama n'addamu nti: “Olw'amakumi ana, sijja kukizikiriza.”
30Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi asatu.” N'addamu nti: “Siikizikirize bwe munaasangibwamu amakumi asatu.”
31Aburahamu n'agamba nti: “Nsonyiwa okuguma okwogera naawe, Afugabyonna. Oboolyawo munaasangibwamu amakumi abiri.” Mukama n'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo amakumi abiri.”
32Aburahamu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Afugabyonna, tosunguwala, era ka njogere nate omulundi gumu gwokka. Oboolyawo munaasangibwamu kkumi.” N'addamu nti: “Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi.”
33Mukama bwe yamala okwogera ne Aburahamu, n'agenda, ne Aburahamu n'addayo eka.

S'ha seleccionat:

ENTANDIKWA 18: LBwD03

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió