LUKKA 14:34-35

LUKKA 14:34-35 LBWD03

“Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”