LUKKA 15
15
Endiga eyabula
(Laba ne Mat 18:12-14)
1Awo abasolooza b'omusolo bonna n'aboonoonyi ne basemberera Yesu okumuwuliriza.#Laba ne Luk 5:29-30 2Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi era alya nabo.” 3Awo Yesu n'abagerera olugero luno nti: 4“Muntu ki ku mmwe aba n'endiga ekikumi, n'abulwako emu ku zo, ataleka ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agenda okunoonya eri ebuze, okutuusa lw'agizuula? 5Era ng'agizudde, agiteeka ku kibegabega kye ng'asanyuka. 6Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange ebadde ebuze.’ 7Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu lingi mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya, okusinga olw'abalungi ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.
Ssilingi eyabula
8“Oba mukazi ki aba n'ebisente kkumi ebya ffeeza, singa abulwako ekimu, atakoleeza ttaala, n'ayera ennyumba, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'akizuula? 9Era ng'akizudde, ayita baliraanwa be, n'agamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ekisente kyange ekya ffeeza ekibadde kibuze.’ 10Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu mu bamalayika ba Katonda olw'omwonoonyi omu eyeenenya.”
Omwana eyali azaaye
11Yesu n'agamba nate nti: “Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri. 12Omuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, mpa omugabo ogwange ku bintu byo.’ Awo n'abagabanyiza mu bintu bye. 13Ennaku tewaayitawo nnyingi, omwana omuto ku bombi n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'agenda mu nsi ey'ewala, n'asaasaanyiza eyo ebintu bye, ng'ayisa empisa embi. 14Awo bwe yabimalaawo byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo, n'atandika okuba mu buzibu. 15N'agenda ne yeesiba ku omu ku bannansi b'omu kitundu ekyo, ye n'amusindika mu kibanja kye okulunda embizzi. 16Ne yeegombanga okukkusa olubuto lwe ebikuta, embizzi bye zaalyanga, ne wataba abimuwa. 17Kyokka bwe yeerowooza, n'agamba nti: ‘Abapakasi ba kitange bameka abalya emmere n'ebalemerawo, naye nze nfiira wano enjala! 18Nja kusituka ŋŋende eri kitange, mmugambe nti kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. 19Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng'omu ku bapakasi bo.’ 20N'asituka, n'agenda eri kitaawe.
“Bwe yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera. 21Omwana n'agamba nti: ‘Kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo!’ 22Kyokka kitaawe n'agamba abaddu be nti: ‘Mwanguwe, muleete ekyambalo ekisinga obulungi, mukimwambaze, era mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere. 23Muleete n'ennyana eyassava, mugitte, tulye tusanyuke, 24kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka.
25“Omwana we omukulu yali mu nnimiro. Bwe yali ajja, era ng'asemberedde ennyumba, n'awulira ekinyumu nga bayimba era nga bazina. 26N'ayita omu ku baddu, n'abuuza ekiriwo. 27Omuddu n'amugamba nti: ‘Muganda wo azze, kitaawo n'atta ennyana eyassava, kubanga amwanirizza nga mulamu.’
28“Ye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira. Awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira. 29Naye ye n'addamu kitaawe nti: ‘Laba, emyaka mingi gye mmaze nga nkukolera, era sijeemerangako kiragiro kyo. Naye tompanga wadde akabuzi, nsanyukeko ne mikwano gyange. 30Naye omwana wo ono, eyalya ebintu byo ng'ali ne bamalaaya, bw'azze, omuttidde ennyana eyassava!’ 31Kitaawe n'amugamba nti: ‘Mwana wange, ggwe bulijjo oli wamu nange, era ebyange bye bibyo. 32Naye kibadde kituufu okujaguza n'okusanyuka, kubanga muganda wo ono, yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ ”
S'ha seleccionat:
LUKKA 15: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: