LUKKA 17
17
Ekibi
(Laba ne Mat 18:6-7,21-22; Mak 9:42)
1Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebisuula abantu mu kibi tebirema kubaawo, kyokka oyo abireeta wa kubonaabona. 2Kyandimubeeredde kirungi okusibibwa ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga lw'aleetera omu ku bato bano okukola ekibi. 3Mwerinde. Muganda wo bw'akola ekibi, mulabule era singa yeenenya, musonyiwe.#Laba ne Mat 18:15 4Singa akukola ekibi emirundi musanvu mu lunaku olumu, era buli mulundi n'ajja gy'oli n'agamba nti: ‘Neenenyezza,’ oteekwa okumusonyiwa.”
Okukkiriza
5Abatume ne bagamba Mukama waffe nti: “Twongeremu okukkiriza.” 6Mukama waffe n'addamu nti: “Singa mulina okukkiriza okutono ng'akasigo ka kaladaali, mwandigambye omuti ogw'enkenene guno nti: ‘Simbuka, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.
Omulimu gw'omuddu
7“Ani ku mmwe aba n'omuddu alima oba alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu nnimiro, amugamba nti: ‘Jjangu otuule olye,’ 8n'atamugamba nti: ‘Tegeka emmere gye nnaalya ekyeggulo, weesibe ompeereze nga ndya era nga nnywa, oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe’? 9Ateekwa okwebaza omuddu oyo olw'okukola ebimulagiddwa? 10Nammwe kye kimu. Bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baddu buddu. Bye tubadde tuteekwa okukola, bye tukoze.’ ”
Yesu awonya abagenge ekkumi
11Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'agenda e Yerusaalemu, n'ayita wakati wa Samariya ne Galilaaya. 12Bwe yali ng'ayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako, 13ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa.”
14Yesu bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Awo bwe baali bagenda, ne balongooka.#Laba ne Leev 14:1-32 15Omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo ng'atendereza Katonda mu ddoboozi ery'omwanguka. 16N'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, nga yeebaza. Oyo yali Musamariya. 17Yesu n'agamba nti: “Abawonyezeddwa tebabadde kkumi? Naye omwenda guli ludda wa? 18Tewalabiseewo mulala akomyewo kutendereza Katonda okuggyako ono ow'eggwanga eddala?” 19Awo Yesu n'amugamba nti: “Yimuka ogende. Owonye olw'okukkiriza kwo.”
Okujja kw'Obwakabaka bwa Katonda
(Laba ne Mat 24:23-28,37-41)
20Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafarisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi, n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweraga. 21Abantu tebaligamba nti: ‘Laba, buli wano,’ oba nti: ‘Buli wali,’ kubanga Obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
22Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Ekiseera kirituuka ne mwegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'Omuntu, kyokka temulirulaba. 23Walibaawo ababagamba nti: ‘Laba, ali wali,’ oba nti: ‘Laba, ali wano.’ Temugendangayo, era temubagobereranga. 24Ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ku ludda olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oludda olulala, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba bw'atyo ku lunaku lwe. 25Kyokka ateekwa okusooka okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'omulembe guno.
26“Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kiseera ky'Omwana w'Omuntu.#Laba ne Nta 6:5-8 27Abantu baali balya era nga banywa, baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato, omujjuzo ne gujja, ne guzikiriza bonna.#Laba ne Nta 7:6-24 28Era kiriba nga bwe kyali mu mulembe gwa Looti. Abantu baali balya era nga banywa, baali bagula era nga batunda, baali basiga era nga bazimba.#Laba ne Nta 18:20–19:25 29Naye ku lunaku Looti lwe yava mu Sodoma, ne watonnya omuliro n'olunyata okuva mu ggulu, ne bizikiriza bonna. 30Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w'Omuntu lw'alirabikirako.
31“Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku kasolya k'ennyumba, ng'ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu. Oyo aliba mu nnimiro naye bw'atyo, taddanga mabega.#Laba ne Mat 24:17-18; Mak 13:15-16 32Mujjukire muka Looti!#Laba ne Nta 19:26 33Buli agezaako okukuuma obulamu bwe, alibufiirwa; kyokka buli afiirwa obulamu bwe, alibuwonya.#Laba ne Mat 10:39; 16:25; Mak 8:35; Luk 9:24; Yow 12:25 34Mbagamba nti mu kiro ekyo, abaliba ababiri mu kitanda ekimu, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. 35Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. [ 36Babiri abaliba mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.”]#17:36 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno. 37Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti: “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.”
S'ha seleccionat:
LUKKA 17: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.