LUKKA 18
18
Olugero lwa nnamwandu n'omulamuzi
1Awo Yesu n'abagerera olugero, okubalaga nti bateekwa bulijjo okwegayirira Katonda awatali kukoowa. 2N'agamba nti: “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, ataatyanga Katonda era atassangamu muntu kitiibwa. 3Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo, eyajjanga ew'omulamuzi oyo, n'agamba nti: ‘Lamula ontaase omulabe wange.’ 4Omulamuzi n'amala ekiseera ng'akyagaanyi, kyokka oluvannyuma n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Newaakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa, 5naye olw'okubanga nnamwandu ono antawaanya, nja kulamula mmutaase, aleme kujjanga kunkooyesa lutata.’ ”
6Awo Mukama waffe n'agamba nti: “Muwulire omulamuzi oyo omubi ky'agamba. 7Kale Katonda talitaasa abalondemu be abamukoowoola emisana n'ekiro? Alirwawo nga tannabayamba? 8Mbagamba nti alibataasa mangu. Wabula Omwana w'Omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
Olugero lw'Omufarisaayo n'omusolooza w'omusolo
9Abo abaali beerowoozaako okuba abalungi, nga banyooma abalala, Yesu n'abagerera olugero luno nti: 10“Abantu babiri baayambuka mu Ssinzizo okusinza. Omu yali Mufarisaayo, omulala musolooza wa musolo.
11“Omufarisaayo n'ayimirira, n'asinza Katonda mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri nga bantu balala, abanyazi, abakumpanya, abenzi. Era siri ng'omusolooza w'omusolo ono. 12Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, mpaayo ekitundu ekimu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.’ 13Kyokka omusolooza w'omusolo n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge eri eggulu, wabula ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nsaasira nze omwonoonyi!’ 14Mbagamba nti oyo yaddayo mu nnyumba ye ng'ali bulungi ne Katonda, kyokka si oli, kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”#Laba ne Mat 23:12; Luk 14:11
Yesu awa omukisa abaana abato
(Laba ne Mat 19:13-15; Mak 10:13-16)
15Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, kyokka abayigirizwa bwe baabalaba, ne babaziyiza nga bababoggolera. 16Yesu n'ayita abaana abo ng'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gyendi, temubaziyiza, kubanga abafaanana nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda. 17Mazima mbagamba nti buli muntu ateesiga Katonda ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kubuyingiramu.”
Omusajja omugagga
(Laba ne Mat 19:16-30; Mak 10:17-31)
18Awo omukungu omu n'abuuza Yesu nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka. 20Ebiragiro obimanyi: toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”#Laba ne Kuv 20:12-16; Ma 5:16-20
21Omukungu n'agamba nti: “Bino byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto n'okutuusa kati.” 22Yesu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Ekintu kimu ekikyakubulako okukola: tunda byonna by'olina, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.” 23Kyokka omukungu bwe yawulira ebyo, n'anakuwala, kubanga yali mugagga nnyo.
24Yesu bwe yalaba omukungu ono ng'anakuwadde, n'agamba nti: “Nga kizibu abagagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda! 25Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
26Abaawulira ebyo ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
27Yesu n'agamba nti: “Abantu bye batayinza, Katonda abiyinza.”
28Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe tuyitenga naawe.”
29Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti buli eyaleka ennyumba ye oba mukazi we, oba baganda be, oba bazadde be, oba baana be olw'Obwakabaka bwa Katonda, 30alifuna ebisingawo obungi mu mulembe guno, n'obulamu obutaggwaawo mu mulembe ogulijja.”
Yesu ayogera omulundi ogwokusatu ku kufa kwe
(Laba ne Mat 20:17-19; Mak 10:32-34)
31Awo Yesu n'azza abayigirizwa be ku bbali, n'abagamba nti: “Laba twambuka e Yerusaalemu, era byonna ebyawandiikibwa abalanzi nga bifa ku Mwana w'Omuntu bijja kutuukirira: 32ajja kuweebwayo mu b'amawanga amalala, abajja okumusekerera, bamuvume, bamuwandire amalusu, 33bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna. Era bajja kumutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” 34Abayigirizwa be tebaalina wadde ekimu kye baategeera ku ebyo. Amakulu g'ebigambo ebyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera ky'abagambye.
Yesu awonya muzibe omusabiriza
(Laba ne Mat 20:29-34; Mak 10:46-52)
35Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'asemberedde ekibuga Yeriko, muzibe yali atudde ku mabbali g'ekkubo ng'asabiriza. 36Bwe yawulira ekibiina ky'abantu nga kiyitawo, n'abuuza nti: “Kiki ekyo?” 37Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo. 38Awo n'aleekaana nti: “Yesu, Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
39Abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye n'ayongera bwongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!” 40Awo Yesu n'ayimirira, n'alagira muzibe okuleetebwa w'ali. Muzibe bwe yasembera, Yesu n'amubuuza nti: 41“Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti: “Mukama wange, nsaba nzibuke amaaso.” 42Yesu n'amugamba nti: “Zibula, owonye olw'okukkiriza kwo.” 43Amangwago n'azibuka amaaso, n'agenda ne Yesu ng'agulumiza Katonda. Abantu bonna bwe baalaba kino, ne batendereza Katonda.
S'ha seleccionat:
LUKKA 18: LBwD03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: