YOWANNE 5
5
1Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo embaga y'Abayudaaya. Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu. 2Mu Yerusaalemu, okumpi n'Omulyango gw'Endiga, waaliwo ekidiba, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Betizata,#5:2 Betizata: Erinnya gye liva liri “Bethzatha.” Abamu bawandiika “Bethesda,” Bayibuli y'Oluganda enkadde mw'eggya “Besesuda.” Waliwo n'abawandiika “Bethsaida.” ekyazimbibwako ebigango bitaano. 3Mu bigango ebyo, mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, n'abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okutabuka. 4Malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu, n'atabula amazzi. Oyo eyasookanga okukka mu kidiba amazzi nga gamaze okutabulwa, yawonyezebwanga buli bulwadde bwonna bwe yabanga nabwo.]#5:3b-4 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina bigambo ebiri mu [ ] wano.
5Waaliwo omuntu, ng'amaze emyaka amakumi asatu mu munaana nga mulwadde. 6Yesu bwe yalaba omuntu oyo ng'agalamidde awo, era n'amanya ng'abadde awo okumala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwonyezebwa?”
7Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu anteeka mu kidiba, amazzi nga gatabuse. Nze wentuukirayo, ng'omulala yansoose dda.”
8Yesu n'amugamba nti: “Golokoka, weetikke akatanda ko, otambule.” 9Amangwago omuntu oyo n'awonyezebwa, ne yeetikka akatanda ke, n'atambula. Olunaku olwo lwali lwa Sabbaato. 10Abayudaaya ne bagamba oyo awonyezeddwa nti: “Olwaleero lwa Sabbaato, tokkirizibwa kwetikka katanda ko.”#Laba ne Neh 13:19; Yer 17:21
11Ye n'abaddamu nti: “Oli amponyezza, ye yaŋŋambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule.’ ”
12Ne bamubuuza nti: “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule?’ ” 13Kyokka eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14Oluvannyuma, Yesu n'asanga omuntu oyo mu Ssinzizo, n'amugamba nti: “Laba, kati owonyezeddwa, toddangayo okwonoona, akabi akasinga kaleme kukubaako.”
15Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu, kubanga yakola ebintu ebiri ng'ekyo ku Sabbaato. 17Yesu n'abaddamu nti: “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”
18Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya Sabbaato kyokka, naye yeeyita n'Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
Obuyinza bw'Omwana
19Awo Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti Omwana talina ky'ayinza kukola ku bubwe, wabula ekyo ky'alaba nga Kitaawe akikola, kubanga ye by'akola, n'Omwana by'akola. 20Kitaawe w'Omwana oyo, amwagala, amulaga byonna ye yennyini by'akola. Era alimulaga n'ebisinga ku ebyo, mulyoke mwewuunye.
21“Nga Kitaawe bw'azuukiza abafu n'abazzaamu obulamu, bw'atyo n'Omwana awa obulamu abo b'ayagala okubuwa. 22Era Kitaawe talina n'omu gw'asalira musango, wabula Omwana gwe yawa okusala emisango gyonna, 23bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bakissa mu Kitaawe. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga ne Kitaawe eyamutuma, tamutaddeemu kitiibwa.
24“Mazima ddala mbagamba nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oyo eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo, era tasalirwa musango. Aba avudde mu kufa, ng'atuuse mu bulamu. 25Mazima ddala mbagamba nti ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda. Era abo abaliwulira, baliba balamu.
26“Nga Katonda bw'ali ensibuko y'obulamu, bw'atyo bwe yawa Omwana we okuba ensibuko y'obulamu. 27Era yamuwa obuyinza okusala emisango, kubanga ye Mwana w'Omuntu. 28Ekyo temukyewuunya, kubanga ekiseera kijja, bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, 29ne bazivaamu. Abo abaakolanga ebirungi, barizuukira ne baba balamu. Abo abaakolanga ebibi, balizuukira ne basingibwa omusango.#Laba ne Dan 12:2
Yesu by'akola bye bikakasa by'ayogera
30“Nze siyinza kubaako kye nkola ku bwange. Nsala omusango, nga Katonda bw'andagira okugusala. N'olwekyo ensala yange eba ntuufu, kubanga sikolera ku kye njagala, wabula ku ekyo eyantuma ky'ayagala.
31“Singa nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima. 32Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima. 33Mmwe mwatuma ababaka eri Yowanne, n'ayogera eky'amazima.#Laba ne Yow 1:19-27; 3:27-30 34Si lwa kuba nti njagala okujulirwa omuntu obuntu, naye njogera ebyo mulyoke mulokolebwe. 35Yowanne yali ttaala eyaka era emulisa. Naye mmwe mwayagala kumala kaseera buseera, nga musanyukira mu kitangaala kye.
36“Naye nnina obujulirwa obusinga n'obwa Yowanne bwe yawa. Ebyo byennyini bye nkola, Kitange bye yandagira okutuukiriza, bye biraga nti Kitange ye yantuma. 37Ne Kitange eyantuma, naye yennyini anjulira. Mmwe temuwuliranga ku ddoboozi lye n'akatono, wadde okulaba bw'afaanana.#Laba ne Mat 3:17; Mak 1:11; Luk 3:22 38Era ekigambo kye temukikuuma mu mitima gyammwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39“Mwekenneenya ebyawandiikibwa, kubanga mulowooza nti mu byo, mwe muli obulamu obutaggwaawo. Sso nabyo byennyini binjogerako, 40era mmwe ne musigala nga temwagala kujja gye ndi, okufuna obulamu.
41“Sinoonya kusiimibwa bantu. 42Naye mmwe mbamanyi nga temuliimu kwagala Katonda. 43Nze najja mu linnya lya Kitange, naye mmwe temunnyaniriza. Omulala bw'ajja ku bubwe, oyo mujja kumwaniriza. 44Kale muyinza mutya okukkiriza, nga munoonya kutendebwa bantu bannammwe, sso nga temufa ku kutendebwa Katonda Omu yekka?
45“Temulowooza nti nze ndibawawaabira eri Kitange. Alibawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. 46Singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza, kubanga yawandiika ebinjogerako. 47Kale oba nga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
S'ha seleccionat:
YOWANNE 5: LB03
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: