ENTANDIKWA 1
1
Okutondebwa kw'ensi
1Ku ntandikwa, Katonda yatonda eggulu n'ensi. 2Ensi yali mu mbeera eyeetabuddetabudde, era nga njereere. Ekizikiza kyali kibuutikidde oguyanja, n'omwoyo gwa Katonda gwali gwetawulira ku mazzi. 3Awo Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala,#Laba ne 2 Kor 4:6 4Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. N'ayawula ekitangaala ku kizikiza. 5Ekitangaala n'akiyita “Emisana,” ate ekizikiza n'akiyita “Ekiro.” Ne buziba, ne bukya.#1:5 Ne buziba, ne bukya: Olunaku mu Bayudaaya lwatandikanga kawungeezi. Olwo lwe lunaku olubereberye.
6Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebbanga wakati w'amazzi, ligaawulemu.”#Laba ne 2 Peet 3:5 7N'ateekawo ebbanga, n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga, n'agali waggulu waalyo. Ne kiba bwe kityo. 8Ebbanga n'aliyita “Eggulu.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokubiri.
9Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu, gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo. 10Olukalu n'aluyita “Ensi,” ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi, n'aliyita “Ennyanja.” Katonda n'alaba nga birungi. 11Era n'agamba nti: “Ensi emere ebimera ebya buli ngeri, ebeeremu omuddo ogubala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebirimu ensigo, ng'ebika byabyo bwe biri.” Ne kiba bwe kityo. 12Awo ensi n'emera ebimera ebya buli ngeri: omuddo ogubala ensigo, ng'ebika byagwo bwe biri, ne miti egy'ebibala bwe gityo. Katonda n'alaba nga birungi. 13Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
14Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era biragenga ebiseera by'obudde, n'ennaku, n'emyaka, 15byakirenga mu bbanga ery'eggulu, bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo. 16Awo Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene, ekisinga obunene kifugenga emisana, ate ekitono kifugenga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye. 17Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu, bimulisenga ensi, 18bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga birungi.
19Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
20Katonda n'agamba nti: “Ekkuŋŋaaniro ly'amazzi lijjulemu ebiramu ebyewalula, n'ensi ebeeremu ebiramu ebibuuka mu bbanga.” 21Katonda n'atonda agasolo aganene ag'omu nnyanja, n'ebitonde byonna ebya buli ngeri ebibeera mu mazzi, n'ebibuuka mu bbanga. Katonda n'alaba nga birungi. 22N'abiwa omukisa, n'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ennyanja. N'ebibuuka mu bbanga byale mu nsi.” 23Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokutaano.
24Katonda n'agamba nti: “Ensi esibukemu ebiramu ebya buli ngeri, ensolo ezifugibwa, n'ez'omu ttale, ennene n'entono, n'ebyewalula.” Ne kiba bwe kityo. 25Katonda n'akola ebyo byonna, era n'alaba nga birungi.
26Katonda n'agamba nti: “Tukole abantu abali nga ffe, nga batufaanana, bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka mu bbanga, n'ebyewalula ku ttaka, n'ensolo era n'ensi yonna.”#Laba ne 1 Kor 11:7 27Awo Katonda n'atonda abantu abali nga ye, n'abatonda nga bamufaanana. Yabatonda omusajja n'omukazi,#Laba ne Mat 19:4; Mak 10:6#Laba ne Nta 5:1-2 28n'abawa omukisa, ng'agamba nti:
“Muzaale mwale,
mujjuze ensi, mugifuge.
Mulabirirenga eby'omu nnyanja,
n'ebibuuka mu bbanga
n'ebiramu byonna
ebyetawulira ku nsi.”
29Katonda n'agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebiri ku nsi, ebibala ensigo, era n'emiti gyonna egibala, bibeerenga emmere yammwe. 30Ensolo zonna n'ennyonyi nziwadde omuddo n'amakoola, bibeerenga emmere yaabyo.” Ne kiba bwe kityo. 31Katonda n'atunula ku buli ky'akoze, n'alaba nga kirungi nnyo. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olw'omukaaga.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 1: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: