YOWANNE 2
2
Embaga ey'obugole e Kaana
1Bwe waayitawo ennaku bbiri, ne wabaawo embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Galilaaya. Nnyina Yesu yaliyo. 2Yesu naye n'ayitibwa ku mbaga, awamu n'abayigirizwa be. 3Omwenge ogw'emizabbibu bwe gwaggwaawo, nnyina n'amugamba nti: “Tebakyalina mwenge ogw'emizabbibu.”
4Yesu n'amugamba nti: “Maama, ndeka! Ekiseera kyange tekinnatuuka” 5Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba mukikole.”
6Waaliwo amatogero mukaaga ag'amayinja, agaateekebwawo, olw'omukolo gw'Abayudaaya ogw'okwetukuza, buli limu nga livaamu lita kikumi oba kikumi mu ataano. 7Yesu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuliza ddala okutuuka ku migo. 8Awo n'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira.
9Omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse omwenge ogw'emizabbibu, n'atamanya gye guvudde, sso abaweereza abaasena amazzi, bo nga bamanyi. N'ayita awasizza omugole, n'amugamba nti: 10“Buli muntu asooka kugabula mwenge ogw'emizabbibu mulungi, abantu bwe bamala okukkuta, n'aleeta ogutali mulungi. Ggwe waterese omwenge ogw'emizabbibu omulungi okutuusa kaakano!”
11Mu byewuunyo Yesu bye yakola, kino kye kyasooka. Yakikolera mu Kaana eky'e Galilaaya, n'alaga ekitiibwa kye, abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12Ebyo bwe byaggwa, Yesu ne baganda be n'abayigirizwa be, era ne nnyina, ne baserengeta e Kafarunawumu, ne bamalayo ennaku ntonotono.#Laba ne Mat 4:13
Yesu mu Ssinzizo
(Laba ne Mat 21:12-13; Mak 11:15-17; Luk 19:45-46)
13Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu.#Laba ne Kuv 12:1-27 14Mu Ssinzizo n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjiibwa, era n'abo abawaanyisa ensimbi. 15N'akwata emiguwa, n'agikolamu obuswanyu, n'abagoba bave mu Ssinzizo, era n'agobamu endiga n'ente. Era n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, ensimbi zaabwe n'aziyiwa. 16N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano. Ennyumba ya Kitange muleme kugifuula ya kusuubuliramu.” 17Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti: “Okwagala ennyumba yo, ayi Mukama, kulindya.”#Laba ne Zab 69:9
18Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ky'okola okutulaga nti olina obuyinza okukola bino?” 19Yesu n'abaddamu nti: “Mumenyeewo Essinzizo lino, nze ndirizimbira ennaku ssatu.”#Laba ne Mat 26:61; 27:40; Mak 14:58; 15:29
20Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Essinzizo lino lyazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga. Naye ggwe olirizimbira ennaku ssatu?”
21Kyokka Yesu, Essinzizo lye yayogerako, gwe mubiri gwe. 22Bwe yamala okuzuukira, olwo abayigirizwa be ne bajjukira nti yakyogera, ne bakkiriza ebyawandiikibwa, era n'ebigambo Yesu bye yayogera.
Yesu amanyi abantu bonna
23Yesu bwe yali e Yerusaalemu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bangi bwe baalaba ebyewuunyo bye yakola, ne bamukkiriza. 24Kyokka Yesu n'atabeeyabizaamu, kubanga yamanya abantu bonna. 25Yali teyeetaaga mulala kumubuulira ebifa ku bantu, kubanga ye yennyini yali amanyi ebiri mu mitima gy'abantu.
Currently Selected:
YOWANNE 2: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: