ENTANDIKWA 3
3
Obujeemu bw'abantu
1Omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu ttale, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gubuuza omukazi nti: “Ddala Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu nnimiro?’ ”#Laba ne Kub 12:9; 20:2 2Omukazi n'agamba omusota nti: “Tuyinza okulya ku bibala by'emiti egy'omu nnimiro, 3okuggyako ebibala by'omuti oguli wakati mu nnimiro. Katonda yagamba nti: ‘Temulyanga ku muti ogwo, wadde okugukwatako. Bwe mulikikola, mugenda kufa.’ ”
4Omusota ne gugamba omukazi nti: “Nedda, temugenda kufa. 5Katonda yayogera bw'atyo, kubanga amanyi nga bwe muligulyako, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mube nga Katonda, mumanye ekirungi n'ekibi.”
6Omukazi n'alaba ng'ebibala by'omuti birungi okulya, era nga nagwo gwennyini gusanyusa amaaso. N'agwegomba, kubanga guleeta amagezi. Kyeyava anoga ku bibala byagwo, n'alya. N'awaako ne bba, naye n'alya. 7Olwo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nti bali bwereere. Ne batunga amakoola g'emiti, ne beekolera ebyokwambala.
8Olwegguloggulo, ne bawulira Mukama Katonda ng'atambula mu nnimiro, ne beekweka mu miti egy'omu nnimiro, aleme okubalaba. 9Mukama Katonda n'akoowoola omusajja nti: “Oli ludda wa?” 10Omusajja n'addamu nti: “Nkuwulidde mu nnimiro, ne ntya, ne nneekweka, kubanga ndi bwereere.”
11Katonda n'amubuuza nti: “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti, gwe nakugaana okulyako?”
12Omusajja n'addamu nti: “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala ne ndya.” 13Mukama Katonda n'abuuza omukazi nti: “Lwaki okoze kino?” Omukazi n'addamu nti: “Omusota gwe gwannimbyerimbye, ne ndya.”#Laba ne 2 Kor 11:3; 1 Tim 2:14
Katonda asala omusango
14Awo Mukama Katonda n'agamba omusota nti:
“Nga bw'okoze kino,
okolimiddwa mu nsolo zonna
enfuge n'ez'omu ttale.
Oneekululiranga ku lubuto lwo,
era onoolyanga nfuufu
obulamu bwo bwonna.
15Nnaakukyawaganyanga n'omukazi,
era nnaakyawaganyanga
ezzadde lye n'eriryo.
Ezzadde ly'omukazi
lirikubetenta omutwe,
ate ggwe oliribojja ekisinziiro.”#Laba ne Kub 12:17
16N'agamba omukazi nti:
“Nnaakwongerangako obulumi ng'oli lubuto.
Mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana.
Kyokka newaakubadde nga kiri bwe kityo,
oneegombanga balo,
era ye anaakufuganga.”
17N'agamba omusajja nti:
“Nga bwe wawulirizza mukazi wo,
n'olya ekibala kye nakugamba
nti tokiryangako,
ensi ekolimiddwa olw'okubeera ggwe.
Onootegananga okufuna ebyokulya
obulamu bwo bwonna.#Laba ne Beb 6:8
18Ensi eneekumerezanga omuddo n'amaggwa,
era onoolyanga omuddo ogw'omu ttale.
19Onookolanga nnyo n'otuuyana
okufuna emmere gy'olya,
okutuusa lw'olidda
mu ttaka mwe waggyibwa,
kubanga ggwe oli nfuufu,
era mu nfuufu mw'olidda.”
20Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya Haawa,#3:20 Haawa: Mu Lwebureeyi erinnya lino livuga ng'ekigambo ekiva mu “Hayya,” ekitegeeza “Lamu.” kubanga ye nnyina w'abalamu bonna. 21Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby'amaliba, n'abambaza.
Adamu ne Haawa bagobebwa mu nnimiro
22Mukama Katonda n'agamba nti: “Omuntu afuuse ng'omu ku ffe, ng'amanyi ekirungi n'ekibi.#3:22 ekirungi n'ekibi: Oba “Buli kintu.” Kaakano tajja kulekebwa kunoga kibala ku muti ogw'obulamu na kukirya okuwangaala emirembe n'emirembe.”#Laba ne Kub 22:14 23Mukama Katonda kyeyava agoba omuntu mu nnimiro y'e Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24Ebuvanjuba w'ennimiro y'e Edeni, Katonda n'ateekayo bakerubi n'ekitala ekimyansa, ekikyukira ku njuyi zonna, okukuumanga ekkubo eriraga ku muti gw'obulamu.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 3: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: