1
Olubereberye 4:7
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
Vertaa
Tutki Olubereberye 4:7
2
Olubereberye 4:26
Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya MUKAMA.
Tutki Olubereberye 4:26
3
Olubereberye 4:9
Awo MUKAMA n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
Tutki Olubereberye 4:9
4
Olubereberye 4:10
MUKAMA n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
Tutki Olubereberye 4:10
5
Olubereberye 4:15
Awo MUKAMA n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.”
Tutki Olubereberye 4:15
Koti
Raamattu
Suunnitelmat
Videot