1
Amas 1:26-27
BIBULIYA ENTUKUVU
Katonda n'agamba nti: “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe ne mu mbala yaffe, bafuge ebyennyanja mu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, ebisolo by'awaka, ssaako n'ebisolo eby'omu nsiko byonna, na buli kyewalula ku ttaka.” Katonda yatonda omuntu mu kifaananyi kye. Yamutonda mu kifaananyi kya Katonda; yabatonda omusajja n'omukazi.
तुलना
खोजें Amas 1:26-27
2
Amas 1:28
Katonda n'abawa omukisa, n'abagamba nti: “Muzaale, mwale, mujjuze ensi mugifuge, mufuge ebyennyanja mu nnyanja, n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebiramu byonna ebyewalula ku ttaka.”
खोजें Amas 1:28
3
Amas 1:1
Mu masooka Katonda yatonda eggulu n'ensi
खोजें Amas 1:1
4
Amas 1:2
mu nsi temwali kantu, nga njereere, n'enzikiza ng'ebisse ku ngulu ku ddubi n'empewo ya Katonda ng'ekunta ku mazzi.
खोजें Amas 1:2
5
Amas 1:3
Katonda n'agamba nti: “Wabeerewo ekitangaala.” Ekitangaala ne kibaawo.
खोजें Amas 1:3
6
Amas 1:31
Katonda n'alaba byonna bye yali akoze nga wamma birungi nnyo. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwomukaaga.
खोजें Amas 1:31
7
Amas 1:4
Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. Katonda n'ayawula ekitangaala ku nzikiza.
खोजें Amas 1:4
8
Amas 1:29
Katonda n'agamba nti: “Wuuno mbawadde omuddo gwonna oguleeta ensigo wonna ku nsi n'emiti gyonna egibala ebibala ebireeta ensigo, y'eneebanga emmere yammwe.
खोजें Amas 1:29
9
Amas 1:5
Ekitangaala n'akiyita misana, ate enzikiza n'agiyita kiro. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olubereberye.
खोजें Amas 1:5
10
Amas 1:6
Era Katonda n'agamba nti: “Wabeerewo olubaale wakati w'amazzi, lwawule amazzi aga waggulu ku mazzi aga wansi.”
खोजें Amas 1:6
11
Amas 1:30
N'ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga na buli kyewalula ku ttaka ekirina obulamu; mbiwadde buli kimera kyonna y'eba ebeera emmere.” Ne kiba bwe kityo.
खोजें Amas 1:30
12
Amas 1:14
Katonda n'agamba nti: “Mu lubaale lw'eggulu wabeerewo ebyaka, byawule emisana n'ekiro, bibeere obubonero okutegeererwa ebiseera by'obudde, ennaku n'emyaka
खोजें Amas 1:14
13
Amas 1:11
Katonda era n'agamba nti: “Ettaka limeze ebimera: omuddo oguleeta ensigo n'emiti egireeta ebibala ku nsi, nga gireeta ebibala omuli ensigo, buli gumu mu mbala yaagwo.” Ne kiba bwe kityo.
खोजें Amas 1:11
14
Amas 1:7
Katonda n'akola olubaale, amazzi agaali wansi w'olubaale n'agaawula ku ago agaali waggulu w'olubaale; ne kiba bwe kityo.
खोजें Amas 1:7
15
Amas 1:12
Ettaka ne limeza ebimera: omuddo oguleeta ensigo ey'embala yaagwo, n'emiti egibala ebibala omuli ensigo mu mbala yaagyo. Katonda n'alaba nga kirungi.
खोजें Amas 1:12
16
Amas 1:16
Katonda yakola ebyaka ebinene bibiri: ekisingako obunene kifuge emisana, ate ekitono kifuge ekiro, ssaako emmunyeenye.
खोजें Amas 1:16
17
Amas 1:9-10
Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu n'olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo. Katonda olukalu n'aluyita nsi, ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita nnyanja. Katonda n'alaba nga kirungi.
खोजें Amas 1:9-10
18
Amas 1:22
Katonda n'abiwa omukisa n'agamba nti: “Muzaale, mwale, mujjule amazzi g'ennyanja, n'ebinyonyi byeyongere obungi ku nsi.”
खोजें Amas 1:22
19
Amas 1:24
Katonda n'agamba nti: “Ettaka lireete ebiramu mu mbala yaabyo, ebisolo by'awaka, n'ebyewalula, n'ebisolo by'oku nsi mu mbala yaabyo.” Ne kiba bwe kityo.
खोजें Amas 1:24
20
Amas 1:20
Katonda n'agamba nti: “Amazzi gabune ebitonde ebirimu obulamu, n'ebinyonyi bibuukire ku nsi mu lubaale lw'eggulu.”
खोजें Amas 1:20
21
Amas 1:25
Katonda yakola ebisolo by'omu nsiko mu mbala yaabyo, n'ebisolo by'awaka mu mbala yaabyo na buli kyewalula ku ttaka mu mbala yaakyo. Katonda n'alaba nga kirungi.
खोजें Amas 1:25
होम
बाइबिल
योजनाएँ
वीडियो