1
Olubereberye 11:6-7
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Mukama n'ayogera nti, “Laba, abantu bano lye ggwanga limu, bonna balina olulimi lumu; kino kye baagala era kye batandise okukola tekijja kubalema. Kale nno, tukke, tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeragana.”
Usporedi
Istraži Olubereberye 11:6-7
2
Olubereberye 11:4
Ne bagamba nti, “Kale nno, twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka mu ggulu, twekolere erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.”
Istraži Olubereberye 11:4
3
Olubereberye 11:9
Erinnya ly'ekibuga kye lyava liyitibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna; n'okuva awo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.
Istraži Olubereberye 11:9
4
Olubereberye 11:1
Abantu ab'omu nsi yonna baalina olulimi lumu n'enjogera emu.
Istraži Olubereberye 11:1
5
Olubereberye 11:5
Mukama n'akka okulaba ekibuga n'omunaala, abaana b'abantu bye bazimba.
Istraži Olubereberye 11:5
6
Olubereberye 11:8
Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna; ne balekera awo okuzimba ekibuga.
Istraži Olubereberye 11:8
Početna
Biblija
Planovi
Filmići