Olubereberye 14

14
Ibulaamu ataasa Lutti
1Awo mu mirembe gya Amulafeeri kabaka w'e Sinali, Aliyooki, kabaka w'e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, n'egya Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, 2bakabaka abo ne balwanagana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera, oba Zowaali. 3Bakabaka abo abataano begattira mu kiwonvu Sidimu, eyo ye nnyanja ey'omunnyo. 4Baali bafugibwa Kedolawomeeri, okumala emyaka kkumi n'ebiri (12). Mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ne bajeema.#Kubal 34:12, Ma 3:17, Yos 3:16 5Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14), Kedolawomeeri ne bakabaka abaali awamu naye, ne bajja, ne bawangulira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu, 6n'Abakooli ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuusa mu Erupalaani ekiri okumpi n'eddungu. 7Olwo ne bakyuka, ne balaga e Nuumisupaati, kati ye Kadesi, ne bawangula ensi yonna ey'Abamereki, n'ey'Abamoli, ababeera mu Kazazonutamali. 8Awo bakabaka: ow'e Sodoma, n'ow'e Ggomola, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiyimu, n'ow'e Bera, oba Zowaali; ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Sidimu, 9okulwanyisa bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Eramu, Tidali, ow'e Goyiyimu, Amulafeeri, ow'e Sinali, ne Aliyooki ow'e Erasali; bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano. 10Ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obwe ttosi; kabaka ow'e Sodoma n'ow'e Ggomola, bwe badduka ne babugwamu, abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.#Lub 19:17,30 11Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mulimu n'eby'okulya byonna, ne bagenda. 12Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodoma, n'ebintu bye, ne bagenda.#Lub 12:5; 13:12 13Omuntu omu eyawonawo n'ajja n'abuulira Ibulaamu, omwebbulaniya; oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli era muganda wa Aneri; abo bombi baali baalagaana ne Ibulaamu okulwaniranga awamu. 14Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga omwana wa muganda we, n'agenda n'abasajja ab'omu maka ge, abaatendekebwa mu by'okulwana, bonna nga bawera bisatu mu kkumi na munaana (318), n'awondera bakabaka abana okutuuka e Daani.#Lub 15:3; 17:12,13,27, Mub 2:7 15N'agabanyaamu basajja be mu bibinja, n'alumba abalabe ekiro, n'abawangula, n'abawondera okutuuka e Kkoba, mu bukiikakkono obwa Ddamasiko. 16N'akomyawo Lutti, mutabani we, omwana wa muganda we, n'ebintu bye, n'abakazi, n'abantu abalala.#Lub 14:11,12
Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa
17Ibulaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save, era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka.#2 Sam 18:18 18Ne Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo; n'aleeta emmere n'omwenge,#Zab 110:4, Mak 5:7, Bik 16:17, Beb 7:1,11 19n'asabira Ibulaamu omukisa, n'ayogera nti,
“Katonda ali waggulu ennyo,
nannyini ggulu n'ensi, awe Ibulaamu omukisa.#Bik 17:24, Beb 7:6,7
20Era Katonda oyo ali waggulu ennyo
akusobozesezza okuwangula abalabe bo, atenderezebwe.”
Ibulaamu n'awa Merukizeddeeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna.#Beb 7:4 21Kabaka w'e Sodoma n'agamba Ibulaamu nti, “Sigaza ebintu, naye ompe abantu bange bonna.” 22Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti, “Ngolola omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi,#Kuv 6:8, Kubal 14:30, Ez 20:5,6, Dan 12:7, Kubal 10:5 23nga ndayira nti, Sijja kutwala kintu kyo nakimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto, oleme kwogera nti, ‘Nze ngaggawazizza Ibulaamu.’#Es 9:15 24Nze sijja kutwala kintu kyo na kimu, wabula ebyo abavubuka abaagenda nange bye balidde; ne Aneri, Esukoli ne Mamule; nabo batwale omugabo gwabwe.”#Lub 14:13

Արդեն Ընտրված.

Olubereberye 14: LBR

Ընդգծել

Կիսվել

Պատճենել

None

Ցանկանու՞մ եք պահպանել ձեր նշումները ձեր բոլոր սարքերում: Գրանցվեք կամ մուտք գործեք