LUKKA 21
21
Ekirabo kya nnamwandu
(Laba ne Mak 12:41-44)
1Awo Yesu n'ayimusa amaaso n'alaba abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu kifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo. 2N'alaba ne nnamwandu omwavu lunkupe ng'ateekamu bussente bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ddala. 3N'agamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu ataddemu kinene nnyo okusinga abalala bonna, 4kubanga bo abalala bonna batodde ku bingi bye balina ne bateeka mu birabo, kyokka ono omwavu ataddemu kyonna ky'abadde alina ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kw'Essinzizo
(Laba ne Mat 24:1-2; Mak 13:1-2)
5Awo abamu bwe baali boogera ku Ssinzizo nga bwe lyazimbibwa n'amayinja amalungi, era nga bwe lyatimbibwa n'ebirabo ebirirabisa obulungi, Yesu n'agamba nti: 6“Bino bye mulaba, ekiseera kirituuka, lwe wataliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
Okuzibuwalirwa n'okuyigganyizibwa
(Laba ne Mat 24:3-14; Mak 13:3-13)
7Awo ne babuuza Yesu nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti binaatera okubaawo?” 8Yesu n'agamba nti: “Mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa; kubanga bangi balijja nga beeyita nze, era nga bagamba nti: ‘Ekiseera ekirindirirwa kituuse.’ Temubagobereranga. 9Bwe muwuliranga entalo n'obwegugungo, temutyanga. Ebyo biteekwa okusooka okubaawo, naye enkomerero terituuka mangwago.”
10Olwo n'agamba nti: “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. 11Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi. Era walibaawo eby'entiisa n'ebyamagero ennyo ebiriva mu ggulu. 12Naye byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, ne babawaayo okuwozesebwa mu makuŋŋaaniro, n'okusibibwa mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'ag'abaami olw'erinnya lyange. 13Kino kiribaviiramu okutuusa ku bantu Amawulire Amalungi. 14Kale mumalirire obuteeraliikirira kya kuwoza.#Laba ne Luk 12:11-12 15Nze ndibawa ebigambo n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakanya wadde okugaana. 16Muliweebwayo bazadde bammwe ne baganda bammwe, n'ab'ekika kyammwe, ne mikwano gyammwe. Era abamu ku mmwe balittibwa. 17Abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. 18Naye newaakubadde olumu ku nviiri zammwe terulizikirira. 19Olw'okugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu.
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemu
(Laba ne Mat 24:15-21; Mak 13:14-19)
20“Bwe muliraba Yerusaalemu nga kyetooloddwa eggye, olwo nga mumanya nti okuzikirira kwakyo kuli kumpi. 21Olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi, abo abalikibaamu bakivangamu, era abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu. 22Ennaku ezo za kuwoolera ggwanga, okutuukiriza byonna ebyawandiikibwa.#Laba ne Hos 9:7 23Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo! Walibaawo okubonaabona kungi mu ggwanga, n'obusungu bwa Katonda ku bantu b'eggwanga lino. 24Balittibwa n'ebitala ebyogi, balitwalibwa mu mawanga gonna nga basibe, era Yerusaalemu kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala, okutuusa ebiseera by'amawanga amalala lwe biriggwaako.
Okutuuka kw'Omwana w'Omuntu
(Laba ne Mat 24:29-31; Mak 13:24-27)
25“Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo.#Laba ne Yis 13:10; Ezek 32:7; Yol 2:31; Kub 6:12-13 26Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa. 27Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu kire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa kinene.#Laba ne Dan 7:13; Kub 1:7 28Naye ebyo bwe biritandika okubaawo, musituke era muyimuse emitwe gyammwe, kubanga okununulwa kwammwe kuli kumpi.”
Ekiyigirwa ku muti omutiini
(Laba ne Mat 24:32-35; Mak 13:28-31)
29Awo Yesu n'abagerera olugero nti: “Mulabire ku muti omutiini, oba ku muti omulala gwonna. 30Bwe mulaba nga gutandise okuddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya buli kumpi. 31Mu ngeri y'emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. 32Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo. 33Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Okwekuuma kwetaagibwa
34“Mwekuume, emitima gyammwe gireme okwemaliranga mu buluvu, ne mu kutamiira, ne mu kweraliikirira eby'obulamu buno, sikulwa ng'olunaku luli lubatuukako nga temwetegese, 35kubanga lulituuka ku bantu bonna abali ku nsi, ng'omutego bwe gukwasa ekintu. 36Kale nno mutunule nga mwegayirira Katonda ekiseera kyonna, mulyoke musobole okuyita mu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole okulabika mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
37Emisana Yesu yabeeranga mu Ssinzizo ng'ayigiriza, obudde bwe bwazibanga n'afuluma, n'amala ekiro ku Lusozi oluyitibwa olw'Emiti Emizayiti. 38Abantu bonna baakeeranga ku makya ne bagenda gy'ali mu Ssinzizo okumuwuliriza.
Attualmente Selezionati:
LUKKA 21: LBwD03
Evidenziazioni
Condividi
Copia
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.