YouVersion logotips
Meklēt ikonu

Olubereberye 8:21-22

Olubereberye 8:21-22 LUG68

Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze. Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.