Olubereberye 8
8
1 #
Lub 19:29; 30:22, Kuv 2:24, Zab 104:7 Katonda n'ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n'aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka; 2#Lub 7:11, 1 Bassek 8:35era n'ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omuggulu ne biggalirwa, enkuba ey'omu ggulu n'eziyizibwa; 3#Lub 7:24amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku ekikumi mu ataano bwe zaayitawo. 4Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 5Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi: mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi entikko z'ensozi ne zirabika. 6Awo oluvannyuma lw'ennaku amakumi ana Nuuwa n'asumulula ekituli eky'eryato kye yakola: 7n'atuma namuŋŋoona n'afuluma n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. 8N'atuma ejjiba okuva w'ali alyoke alabe ng'amazzi gaweebuuse kungulu ku nsi; 9naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali kungulu ku nsi yonna: n'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mw'ali mu lyato. 10N'ayosaawo ennaku musanvu nate; nate n'atuma ejjiba okuva mu lyato; 11ejjiba ne likomawo olw'eggulo mw'ali; laba, mu kamwa kaalyo ne muba akalagala akabisi ak'omuzeeyituuni: Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi. 12N'ayosaawo ennaku musanvu nate; n'atuma ejjiba; awo oluvannyuma teryakomawo nate gy'ali. 13Awo mu mwaka ogw'olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n'aggyako ekyasaanikira eryato, n'atunuulira, laba, kungulu ku nsi nga kukalidde. 14Mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri mu musanvu olw'omwezi, ensi n'ekalira. 15Katonda n'agamba Nuuwa nti 16#Lub 7:13Va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n'abaana bo, n'abakazi b'abaana bo, awamu naawe. 17#Lub 1:22,28Ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n'ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi. 18Nuuwa n'afuluma, n'abaana be ne mukazi we n'abakazi b'abaana be awamu naye: 19buli nsolo, buli ekyewalula, na buli ekibuuka, buli ekitambula kyonna ku nsi, mu bika byabyo, ne bifuluma mu lyato. 20#Lub 7:2,3Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto. 21#Lub 3:17; 6:5, Kuv 29:19, Leev 1:9, Is 54:9, Ez 20:41, Bar 3:23, Bef 5:2, Baf 4:18Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze. 22#Yer 5:24; 33:20,25Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.
Pašlaik izvēlēts:
Olubereberye 8: LUG68
Izceltais
Dalīties
Kopēt
Vai vēlies, lai tevis izceltie teksti tiktu saglabāti visās tavās ierīcēs? Reģistrējieties vai pierakstieties
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: