Olubereberye 7

7
Amataba
1Mukama n'agamba Nuuwa nti, “Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mulembe guno.#Lub 6:9, Mat 24:38,39, Luk 17:26,27, Beb 11:7, 1 Peet 3:20 2Ku buli nsolo nnongoofu, twalako musanvu musanvu, ensajja n'enkazi. Naye ku zitali nnongoofu, twalako bbiri, ensajja n'enkazi yaayo;#Leev 11:1-31 3Era ne ku bibuuka waggulu, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi; ekika kyabyo kireme okuzikirira okuva ku nsi, 4kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nditonnyesa enkuba ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro; era ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva ku nsi.”#Lub 6:17 5Nuuwa n'akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.#Lub 6:22
6Nuuwa yalina emyaka lukaaga (600), amataba we gajjira ku nsi. 7Nuuwa n'ayingira mu lyato ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi b'abaana be, okuwona amataba. 8Ku buli kika kya nsolo ennongoofu n'ezitali nnongoofu, ne ku buli kika ky'ebibuuka mu bbanga, n'eky'ebyewalula ku ttaka, 9ne biyingira ne Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, nga Katonda bwe yalagira Nuuwa. 10Bwe waayitawo ennaku musanvu, amataba ne gajja ku nsi. 11Mu mwaka ogwolukaaga (600) ogw'obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu (17), ensulo zonna ez'omu nnyanja ennene ne zizibukuka.#Lub 8:2, Zab 78:23, Nge 8:28, Is 24:18, Mal 3:10 12Enkuba n'etonnya ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro. 13Ku lunaku olwo Nuuwa ne mukazi we, n'abaana baabwe: Seemu, Kaamu ne Yafeesi ne bakazi baabwe, ne bayingira mu lyato. 14Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu nsiko, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato. 15Ne biyingira ne Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri ku buli ekirina omukka ogw'obulamu.#Lub 6:20 16Ebiramu ebyayingira ne Nuuwa byali ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yamulagira; Mukama n'amuggalira munda.#Lub 7:2,3 17Amataba ne gabeera ku nsi ennaku ana (40); amazzi ne geeyongera obungi ne gasitula eryato okuva ku ttaka. 18Amazzi ne geeyongera nnyo ku nsi, ne gabuna wonna, eryato ne liseeyeeya ku ngulu ku mazzi. 19Amazzi ne gatumbiira nnyo ku nsi; ne gabuutikira ensozi zonna ezaali zisingira ddala obugulumivu.#Zab 104:6 20Amazzi ne gatumbiira emikono kkumi n'etaano (15) okusukka ku ntikko z'ensozi. 21Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu nsiko n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa.#Lub 6:13,17, 2 Peet 3:6 22Buli kintu ku nsi ekyalimu omukka ogw'obulamu ne kifa.#Lub 2:7 23Mukama n'asangula buli kiramu kyonna ku nsi: abantu, n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato.#2 Peet 2:5 24Amazzi ne gasigala nga gatumbidde ku nsi okumala ennaku kikumi mu ataano (150).

Obecnie wybrane:

Olubereberye 7: LBR

Podkreślenie

Udostępnij

Kopiuj

None

Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj