1
Olubereberye 9:12-13
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
Uporedi
Istraži Olubereberye 9:12-13
2
Olubereberye 9:16
Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
Istraži Olubereberye 9:16
3
Olubereberye 9:6
“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
Istraži Olubereberye 9:6
4
Olubereberye 9:1
Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
Istraži Olubereberye 9:1
5
Olubereberye 9:3
Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
Istraži Olubereberye 9:3
6
Olubereberye 9:2
Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
Istraži Olubereberye 9:2
7
Olubereberye 9:7
Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
Istraži Olubereberye 9:7
Početna
Biblija
Planovi
Video zapisi