Yokaana 2
2
Embaga y'obugole e Kaana
1Olunaku olwokusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo.#Yok 1:43 2Yesu n'abayigirizwa be nabo baali bayitiddwa ku mbaga. 3Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti, “Tebalina nvinnyo.” 4Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, Onvunaana ki? Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.”#Yok 19:26, Mat 12:48, Mak 1:24 5Nnyina n'agamba abaweereza nti, “Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola.” 6Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukuza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.#Mak 7:3,4 7Yesu n'abagamba nti, “Mujjuze amasuwa amazzi.” Ne bagajjuza okutuusa ku migo. 8N'abagamba nti, “Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira. 9Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole, 10n'amugamba nti, “Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi; naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.” 11Kano ke kabonero#2:11 Akabonero mu njiri ya yokaana, ekyamagero kiyitibwa, kabonero. Akabonero ako kaba kasonga ku Yesu, kutegeeza Yesu yaani. Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.#Yok 1:14; 11:40
Yesu Alongoosa Yeekaalu
(Mat 21:12-13, Mak 11:15-17, Luk 19:45-46)
12Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku ntonotono.#Yok 7:3, Mat 4:13
13Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi. 14Mu Yeekaalu n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjibwa, n'abawaanyisa effeeza nga bali ku mirimu gyabwe.#Mat 21:12,13, Mak 11:15-17, Luk 19:45,46 15Naddira emigwa n'agikozesa nga embooko, n'abagoba bonna mu Yeekaalu, n'agobamu endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika n'emmeeza zaabwe. 16N'agamba abaali batunda enjiibwa nti, “Muggyeewo ebintu bino; muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya busubuzi.”#Luk 2:49 17Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti, “Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.”#Zab 69:9 18Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Kabonero ki k'otwolesa akakukozesa bino?”#Mat 21:23, Yok 3:2 19Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Mumenye Yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.”#Mat 26:61; 27:40 20Awo Abayudaaya ne boogera nti, “Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka ana mu mukaaga (46), naawe oligizimbira ennaku ssatu?” 21Naye yayogera ku Yeekaalu ya mubiri gwe.#1 Kol 6:19 22Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera.
Yesu amanyi abantu bonna
23Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe yakola. 24Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, 25era yali teyeetaaga muntu yenna okumutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.#Mak 2:8
Trenutno izabrano:
Yokaana 2: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li da tvoje istaknuto bude sačuvano na svim tvojim uređajima? Kreiraj nalog ili se prijavi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: