Yokaana 5
5
Yesu awonya omulwadde ku kidiba
1Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka e Yerusaalemi.
2Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano. 3Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba: 4kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okukkamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe yabanga nabwo.] 5Waaliwo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka asatu mu munaana (38). 6Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti, “Oyagala okuba omulamu?” 7Omulwadde n'amuddamu nti, “Ssebo, sirina muntu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera, nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.” 8Yesu n'amugamba nti, “Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.”#Mat 9:6 9Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula.#Yok 9:14
Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti. 10Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti, “Leero ssabbiiti, kya muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.”#Yer 17:21, Luk 6:2 11Naye n'abaddamu nti, “Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.” 12Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti, Weetikke ekitanda kyo otambule?”#Luk 5:21 13Naye eyawonyezebwa yali tamanyi Yesu, kubanga Yesu yali amaze okugenda, ate nga abantu abaali mu kifo kiri nga bangi. 14Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu Yeekaalu, n'amugamba nti, “Laba, oli mulamu; toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.”#Yok 8:11 15Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti, “Yesu ye yamponya.” 16Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti.#Mat 12:14 17Naye Yesu n'abaddamu nti, “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.” 18Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.#Yok 7:30; 10:33
Obuyinza Yesu gya buggya
19Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti,#Yok 3:11,32 “Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza kukola kintu ku bubwe, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola; kubanga Kitaawe by'akola byonna, n'Omwana by'akola. 20Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga n'emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwewuunye.#Yok 3:35 21Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa. 22Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala emisango gyonna; #Dan 7:13,14, Bik 17:31 23bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma.#Baf 2:10,11, 1 Yok 2:23, Luk 10:16 24Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.#Yok 3:16,18; 8:51, 1 Yok 3:14 25Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu.#Mat 8:22, Bef 2:5,6 26Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;#Yok 1:1-4 27era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.#Dan 7:10,14, Yok 5:22 28Temwewuunya ekyo; kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, 29ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”#Yok 6:40, Dan 12:2, Mat 16:27
Yesu by'akola bikakasa by'ayogera
30 “Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala. #
Yok 5:19; 6:38 31Bwe nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima.#Yok 8:14 32Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima. #Yok 5:36,37, 1 Yok 5:9 33Mmwe mwatumira Yokaana ababaka naye n'akakasa amazima.#Yok 1:19-34 34Si lwa kuba njagala obujulirwa bw'omuntu, naye njogera ebyo mmwe mulokoke. 35Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala okumala ekiseera kitono nga musanyukira mu kitangaala kye. #Luk 1:17 36Naye obujulirwa bwe nnina bwe bukulu okusinga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu egyo gyennyini gye nkola, era gye gijulira nga Kitange ye yantuma.#1 Yok 5:9, Yok 1:33; 3:2 37Era Kitange eyantuma oyo yajulira ebyange. Eddoboozi lye temuliwulirangako n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.#Mat 3:17, Ma 4:12 38Era n'ekigambo kye tekibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza. 39Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;#Luk 24:27, 2 Tim 3:15-17, 1 Peet 1:11 40era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu. 41Siweebwa bantu kitiibwa. 42Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu. 43Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe mulimusembeza.#Mat 24:5 44Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?#Yok 12:43, Mat 23:5-7 45Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.#Ma 31:26 46Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga oyo yampandiikako.#Lub 3:15; 49:10, Ma 18:15 47Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?”#Yok 7:19
Trenutno izabrano:
Yokaana 5: LBR
Istaknuto
Podijeli
Kopiraj
Želiš li da tvoje istaknuto bude sačuvano na svim tvojim uređajima? Kreiraj nalog ili se prijavi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: