YouVersion logo
Dugme za pretraživanje

Olubereberye 6:1-4

Olubereberye 6:1-4 LUG68

Awo abantu bwe baasooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab'obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b'abantu ne babazaalira abaana: bano be b'amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira.