Bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala okusinga bano bwe banjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga abaana b'endiga zange.”
Era n'amugamba omulundi ogwokubiri nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Lundanga endiga zange.”
N'amugamba omulundi ogwokusatu nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” Peetero n'anakuwala, kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti: “Onjagala?” N'amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi byonna, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga endiga zange.