ENTANDIKWA 2

2
1Bwe bityo eggulu n'ensi, n'ebibirimu byonna, ne biggwa okukola. 2Ku lunaku olw'omusanvu, Katonda n'amala emirimu gye gyonna gye yakola, n'awummula ku lunaku olwo olw'omusanvu.#Laba ne Beb 4:4,10#Laba ne Kuv 20:11 3N'awa omukisa olunaku olw'omusanvu, n'alutukuza, kubanga ku lunaku olwo, kwe yamalira okutonda, n'alekera awo okukola. 4Bwe bityo eby'omu ggulu n'eby'oku nsi bwe byatondebwa.
Ennimiro y'e Edeni
Mukama Katonda lwe yakola ensi n'eggulu, 5waali tewannabaawo miti wadde ebimera ebirala ku nsi, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesaako nkuba, era nga tewali muntu alima ensi. 6Naye amazzi gaavanga mu ttaka, ne gannyikiza ensi.
7Awo Mukama Katonda n'abumba omuntu mu nfuufu y'ettaka, n'amufuuwa mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'atandika okuba omulamu.#Laba ne 1 Kor 15:45
8Awo Mukama Katonda n'asimba ennimiro mu Edeni, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. 9N'ameza omwo buli muti ogusanyusa okulaba, era ogubala ebibala ebiwooma. Mu nnimiro wakati mwalimu omuti oguleeta obulamu, n'omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi.#Laba ne Kub 2:7; 22:2,14
10Omugga ne gusibuka mu Edeni okufukiriranga ennimiro, ne gweyawulamu, ne gufuuka emigga ena. 11Ogusooka, erinnya lyagwo Pisoni. Ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Havila, erimu zaabu. 12Ddala ensi eyo erimu zaabu omulungi, n'ebyakawoowo ebitasangikasangika, era n'amayinja ag'omuwendo! 13Erinnya ly'omugga ogwokubiri, Giboni. Ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kuusi. 14Omugga ogwokusatu ye Tigiriisi, oguyita ebuvanjuba bwa Assiriya. N'omugga ogwokuna ye Ewufuraate.
15Awo Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu nnimiro ey'e Edeni agirimenga, era agirabirirenga. 16N'amugamba nti: “Buli muti ogw'omu nnimiro, olyangako nga bw'onooyagalanga. 17Naye omuti oguleeta okumanya ekirungi n'ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako, tolirema kufa.”
18Awo Mukama Katonda n'agamba nti: “Si kirungi omuntu okubeera yekka. Nja kumukolera omubeezi amusaanira.” 19Mukama Katonda kyeyava addira ettaka n'akolamu ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga, n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita, era buli kiramu, erinnya lye yakiyita, lye lyaba erinnya lyakyo. 20Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye nga tannazuula mubeezi amusaanira.
21Awo Mukama Katonda ne yeebasa omusajja otulo tungi. N'amuggyamu olubiriizi lumu, n'ajjuzaamu ennyama mu kifo kyalwo. 22Olubiriizi olwo lw'aggye mu musajja, n'alukolamu omukazi, n'amumuleetera. 23Omusajja n'agamba nti: “Ddala ono ye muntu munnange, lye ggumba erivudde mu magumba gange, gwe mubiri oguvudde mu mubiri gwange. Anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja.#2:23 Omukazi: Mu Lwebureeyi “Ishshah,” kiva mu “Ish,” ekitegeeza “Omusajja.”
24Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne baba omuntu omu.#Laba ne Mat 19:5; Mak 10:7-8; 1 Kor 6:16; Beef 5:31
25Omusajja ne mukazi we bombiriri baali bwereere, naye tebaakwatibwa nsonyi.

Märk

Dela

Kopiera

None

Vill du ha dina höjdpunkter sparade på alla dina enheter? Registrera dig eller logga in