1
LUKKA 24:49
Luganda Bible 2003
Era nze nja kubaweereza ekirabo, Kitange kye yabasuubiza. Naye mubeere mu kibuga, okutuusa lwe mulifuna amaanyi agava mu ggulu.”
አወዳድር
{{ጥቅስ}} ያስሱ
2
LUKKA 24:6
Taliiwo wano, azuukidde. Mujjukire nga bwe yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, ng'agamba nti: Luk 9:22; 18:31-33
3
LUKKA 24:31-32
Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera, kyokka n'ababulako, nga tebakyamulaba. Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?”
4
LUKKA 24:46-47
n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo ateekwa okubonaabona n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu, era nti mu linnya lye, obubaka obw'okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi buteekwa okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna, okusookera ku Yerusaalemu.
5
LUKKA 24:2-3
Ne basanga ng'ejjinja liyiringisiddwa ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana. Ne bayingira, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu.
ቤት
መጽሐፍ ቅዱስ
እቅዶች
ቪዲዮዎች