ENTANDIKWA 6
6
Abantu boonooneka
1Abantu bwe baatandika okweyongera obungi ku nsi, era nga bazadde abaana ab'obuwala,#Laba ne Yob 1:6; 2:1 2abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi, ne bawasaamu be baayagala. 3Mukama n'agamba nti: “Sijja kuleka bantu kuwangaala mirembe na mirembe, kubanga ba kufa. Banaawangaalanga emyaka egitasukka mu kikumi mu abiri.”
4Mu biro ebyo, ne mu biseera ebyaddirira, waaliwo abantu abawagguufu, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu. Abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.#Laba ne Kubal 13:33
5Mukama bwe yalaba ng'abantu boonoonese nnyo ku nsi, era nga balowooza bibi byereere mu mitima gyabwe bulijjo,#Laba ne Mat 24:37; Luk 17:26; 1 Peet 3:20 6ne yejjusa olw'okubatonda n'okubateeka ku nsi. N'anakuwala, 7n'agamba nti: “Nja kusaanyaawo ku nsi abantu be natonda, nsaanyeewo n'ensolo era n'ebinyonyi, kubanga nejjusizza okulaba nga nabikola.” 8Wabula n'asiima Noowa.
Noowa
9Bino bye bifa ku Noowa: Noowa yali mutuukirivu, nga taliiko ky'anenyezebwa mu mulembe gwe. Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda.
Bano be baana be yazaala:#Laba ne 2 Peet 2:5 10yazaala Seemu ne Haamu ne Yafeeti. 11Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, era n'ejjula eby'obukambwe. 12Katonda n'atunuulira ensi, n'alaba ng'eyonoonese, kubanga buli muntu yali ayonoonye obulamu bwe ku nsi.
13Katonda n'agamba Noowa nti: “Nsazeewo okuzikiriza abantu bonna, kubanga ensi ejjudde eby'obukambwe bye bakola. Kale nja kubazikiririza wamu n'ensi. 14Weekolere eryato mu mbaawo ennungi, olisalemu ebisenge, olisiige envumbo munda ne kungulu. 15Likole nga lya mita kikumi mu asatu mu ssatu obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi, ne mita kkumi na ssatu obugulumivu. 16Lizimbe nga lya kalina ssatu, oteekeko eddirisa ng'oleseeyo sentimita amakumi ana mu nnya okuva waggulu, era oliteekeko omulyango mu mbiriizi zaalyo. 17Nja kuleeta omujjuzo gw'amazzi ku nsi okuzikiriza buli kiramu kyonna. Buli kintu ku nsi kijja kufa. 18Naye ndikola naawe endagaano. Oliyingira mu lyato, ggwe ne mukazi wo, n'abaana bo, era ne bakazi baabwe. 19Oliyingiza mu lyato ekisajja n'ekikazi ekya buli kiramu ekirina omubiri, biwonere wamu naawe. 20Oliyingiza buli kika eky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ensolo n'eky'ebyewalula ku ttaka. Olibiyingiza bibiri bibiri biwone okufa. 21Otwalanga n'otereka ku buli kika kya mmere eyiyo gy'olirya, ne ku buli kika kya mmere eyaabyo.” 22Noowa n'akola byonna Katonda bye yamulagira okukola.#Laba ne Beb 11:7
Currently Selected:
ENTANDIKWA 6: LBwD03
ማድመቅ
Share
Copy
ያደመቋቸው ምንባቦች በሁሉም መሣሪያዎችዎ ላይ እንዲቀመጡ ይፈልጋሉ? ይመዝገቡ ወይም ይግቡ
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.